Omukazi omulala bamuwambye

OMUKAZI omusuubuzi yabadde agenze kulambula nnyumba gy’azimba e Buziga-Konge mu Makindye. Eno abasajja gye baamulumbye ne bamussa mu mmotoka. Yagezezzaako okubalwanyisa ne bamukubamu empi n’apowa.

 Amaka ga Bola (ku kkono) g'azimba e Konge nga tegannaggwa

Omukazi ono musuubuzi wa bitengi. Okujja mu Kampala yava Congo n’akozesa obumanyirivu bwe e Congo n’akola ssente empya n’enkadde Amannya ge ye Nganga Bibiche Bola.

Ku Lwokutaano yagenze okulambula enju n’omukozi we ow’awaka Aisha Nantaba. Baavudde Konge w’asula.

Eggulo Nantaba yakoze sitatimenti ku poliisi e Kabalagala era ebyabaddewo ebinyumya bwati: "Yalambudde ennyumba nga bw’agikuba ebifaananyi ku ssimu.

Yafulumye ebweru okukuba ebifaananyi ebiraga ekifo kyonna. Yabadde akyakuba ebifanaanyi, nnalabye emmotoka Toyota Ipsum ng’emusibirako. Abasajja bana ne baggula enzigi erudda n’erudda.

Eyasoose okutuuka awali mukama wange yabadde mu ngoye nzirugavu zonna ne gaalubindi.

Banne basatu baabadde mu ngoye ezifaanana ez’abamagye. Baamukutte ne bamuwaliriza okuyingira mu mmotoka.

Yasoose kugaana n’akuba enduulu. Nnalabye omusajja ng’amukuba empi olwo n’agonda ne bamuyingiza.

Nnakutte essimu ne nkuba ku ssimu ya mukama wange ng’evuga kyokka nga tagikwata. Nnakubye ennamba za mikwano gye ne mbategeeza ekiguddewo. Nagenze okuddamu okukuba ku ssimu ye nga teriiko, n’okutuusa kati teriiko.

Nazzeeyo eka e Konge gye nasanze mikwano gye be nabadde mmaze okukubira essimu. Twagenze ku poliisi e Gaba nga taliiyo.

Tweyongeddeyo e Kabalagala n'e Katwe nga taliiyo. Ku Ssande nakoze sitatimenti ku poliisi e Kabalagala. Nantaba agamba nti amaze emyaka ena ng’akolera omukyala ono tamubuulirangako ku kizibu kyonna.

Poliisi yagguddewo fayiro SD18/25/2018. Tekyategeerekese oba yawambiddwa bazigu oba bitongole bikuumaddembe bye byamukutte.

ABANTU MUKAAGA BAWAMBIDDWA MU MYEZI EBIRI

Okusinziira ku lipooti y’ekitongole kya Flying Squad, abantu mukaaga be baakawambibwa omwaka guno.

Lipooti eraga nti emisango 24 egy’abantu ababuze, gye gyaloopebwa omwaka oguwedde.

Nantaba eyalaba nga bawamba Bola.

 

Ku bano, omuntu omu yattibwa, 15 baazuulibwa ne bakwasibwa famire zaabwe ate mukaaga bakyabuze n’okutuusa kati.

Lipoota eyakoleddwa Herbert Muhangi eraga nti, abamenyi b’amateeka 27 baakwatibwa ku by’okuwamba abantu, ku bano 16 ne bavunaanibwa mu kkooti ate 11 bakyabuulirizibwako.

ABABUZIDDWAAWO KULIKO

Susan Magara; Eyali atuukirwako ssente mu kkampuni ya Bwendero Dairy Farm (BDF) esangibwa e Hoima kyokka yali akolera ku ofiisi zaayo ezisangibwa ku Kabakanjagala e Mengo kati wiiki ssatu bukya abula.

Mmotoka ye, yasuulibwa mmita nga 200 okuva we yali asula e Lungujja. Abaamuwambye baagala kitaawe, John Magara abawe akakadde ka ddoola kalamba mu za Uganda , obuwumbi busatu n’obukadde 600. Baatiisatiisa nti bwe batabawa ssente, bagenda kumutta!

Bawadde famire obukwakkulizo obulala okuli okuggya poliisi mu nsonga zino bwe baba baagala okulaba omwana waabwe nga mulamu. Kitaawe John Magara akulira BDF omuwala gy’akola yagaanyi okubaako ky'ayogera we batuuse mu kumunoonya.

Omuduumizi wa Flying Squad Herbert Muhangi yagambye nti, bagezaako okulaba nga bazuula Magara nga mulamu era asuubira nti bajja kumuzuula.

Poliisi eriko abantu babiri be yakutte ku musango guno okuli muganzi wa Magara bagiyambeko mu kunoonyereza. Isaac Makubuya; makanika wa kompyuta, yabula nga February 13 oluvannyuma lw’okumukubira essimu nga bamuyita okubaako kompyuta z’akanika ku Kampala Road.

Okuva lwe yagenda okukanika kompyuta, taddangamu kulabika. Omu ku bafamire ya Makubuya agamba nti tebalina mpuliziganya yonna gye baafunye ku muntu waabwe.

Fatuma Ssendagire Nabiwemba; Ono mukozi mu ofiisi y’akulira okuwaaba emisango gya Gavumenti (DPP), yabula nga January 12 wabula wiiki ewedde, yazuuliddwa n’addizibwa aba famire. Kigambibwa nti abaali bamuwambye baliko ssente ze baasaba abafamire era ne bazibawa ne bamuyimbula.

Omwogezi wa ofiisi ya DPP, Jane Kajuga Okuo, yategeezezza bannamawulire wiiki ewedde nti famire eyagala okugirekera eddembe ereme yeesigalize ebyabaddewo.

Kyokka bwe yali yaakabula, bba Ssendagire bwe yali ku ofiisi za Flying Squad ng’akaaba yategeeza nti, mukyala we okubula yalina ensonga ezaali zimunyiizizza n’asaba ensonga zikwatibwe n’obwegendereza.

Ekikomera Suzan Magara mwe yali asula e Lungujja.

Oluvannyuma kyategerekeka nti ababiri bano, baali bafiiriddwa omwana mu ngeri eyabatabula. Bba yasooka kulowooza nti okufiirwa omwana kyali kitabudde nnyo mukyala we.

Abalongo b’e Luweero; Wiiki ewedde, omusajja Charles Ayesiga ow’e Kabahara mu Masindi yeeyise Julius Kisembo, omusomesa anoonya omulimu n’agenda mu zooni ya Mabaale mu kibuga e Luweero gye yapangiszza omuzigo n'abba abalongo Rahian Nakato ne Sumaya Babirye n’abatwala e Masindi mu woteeri emu.

Eno gye yasinzidde n’akubira bazadde b’abaana Juma Nsereko ne Susan Nakaggwa n’abasaba ssente obukadde 13 okubabawa abaana.

Eyabbye abaana yabadde mu Masindi Guest House ng’alaba amawulireku ttivvi n’abantu abalala agaalaze ebifaananyi by’abaana abaabuze. Abaalabye Ayesiga n’abaana baakubidde poliisi y’e Masindi essimu.

Kyokka amawulire olwawedde Ayesiga n’akubira abazadde ng’abatiisatiisa nti, ebintu ke babikwasizza poliisi n’abamawulire ekinaddirira ku baana baabwe be banaamanya.

Edward Kyaligonza aduumira poliisi ya Savanah etwala Luweero yategeezezza nti, Ayesiga baamukutte era bagenda kumuvunaana okuwamba abaana n’ekigendererwa ky’okufuna ssente.

Abaakwatibwa kuliko; Elly Muwagire eyeeyita Ssande, Simon Muhanguzi ne Catherine Ainembabazi. Baggulwako emisango gy’okuwamba abantu n’obutemu.

Abaawambye Suzan Magara basabye obuwumbi 3.

Herbert Muhangi yategeezezza olupapula lwa The New Vision nti we baakwatira Ssande ne banne, wakati wa July 2015 ne February 2016, baali bakawamba abantu 13 ng’abamu baabatta.

ABAZZE BAWAMBIBWA NE BATTIBWA;

January 2018; Francis Ekalungar eyali omubazi w’ebitabo ku Case Hospital, yawambibwa abasajja abaali mu kabinja ka Bodaboda 2010 ne bamubbako obukadde 15 ne bamutta nga January 3 omulambo ne bagukumako omuliro. Poliisi yakwata Huzair Kiwalabye ne banne bwe baali mu butemu ne basindikibwa e Luzira.

June 2010; Gordon Tumusiime ng’ali ne Brian Ssajjabbi ne Mellon Nabaasa, baawamba omwana Kham Kakama okuva mu maka ga bazadde be Naome Karekaho ne Sven Karekaho eyali omukozi wa URA mu Bugoloobi Flats. Baasaba obukadde 30 ne bazibawa kyokka omwana ne bamutta omulambo ne bagusuula e Kamwokya. Poliisi yabakwata Tumusiime n’akkiriza omusango omulamuzi Faith Mwondha n’amuwa ekibonerezo kya kusibibwa emyaka 30 ku misango ebiri obutemu n’okuwamba. Yalagira buli kibonerezo bamusibe emyaka 30.

March 2014; Omuyizi wa St. Mark e Namagoma, Joan Namazzi yawambibwa ng’ava okukyalira mukulu we e Kyambogo. Abaamuwamba, baasaba bazadde be obukadde bubiri bamute kyokka oluvannyuma ne bamutta. Poliisi yakwata Aloysious Ssemanda, Asuman Muherezane Saidi Ayinebyona ne basindikibwa e Luzira.

December 2016; Daniel Weldo munnansi wa Eritrea, yawambibwa omujaasi wa UPDF, Capt. Hakim Mangeni ng’ali ne Ben Lumu ne Rucy Katuramu. Ono baamubbako obukadde bubiri eza Euro ne bamutta omulambo ne gusuulibwa e Kenya.

March 2017; Munnamateeka w’omu Kampala, akolera ekitongole kya Kampala City Council Authority (KCCA) yawambiddwa abasajja okuva ku kifo ekiriirwamu ekimu e Bukoto ne bamutwala e Salama Flying Squad gye yamubaggyiddeko.

September 2017; Flying Squad yakutte abaserikale ba poliisi okuli ne mayinja Francis Edyegu olw’okuwamba omuntu ne bamusaba abawe 100,000 eza doola.

Baasimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road ne basindikibwa e Luzira.