Engeri Poliisi gye yalemeddwa okutaasa obulamu bwa Susan Magara

Abanene mu Gavumenti batadde akazito ku poliisi nga baginenya okugayaala n’eremwa okutaasa obulamu bw’omuwala Suzan n’amala mu buwambe wiiki ssatu nnamba.

 Fr. Mungereza ng’asabira omwoyo gw’omugenzi e Mbuya.

Kigambibwa nti okuva omuwala lwe baamuwamba babadde bamwetoolooleza mu bifo bitaano okuli Mpigi, Matugga, Kawanda, Namirembe ne ku Sir Apollo Kaggwa okuliraana enkulungo egenda e Nakulabye.

Kaweefube w’okununula omuwala yasooka kuyingizibwamu aba CMI. Waaliwo omukisa gw’okukwata abatemu e Mpigi ku bikondo, abatemu we baalagirira taata abasangewo abawe ensimbi bamukwase muwala we.

Wabula kigambibwa nti taata yatya nti naye baali bayinza okumuwamba kubanga baali bamukomekkerezza agende yekka.

Taata w’omuwala yagendera mu mmotoka n’abaserikale ba CMI era bwe yatuukawo n’akuba essimu ne bakamutema nti,

“ Tukulabye, naye abaserikale b’ozze nabo sooka obazzeeyo gy’obaggye okomewo wekka.”

Yali akyennyonnyolako nti azze yekka, abasajja essimu ne bagiggyako.

Kyazuulwa luvannyuma nti baali bamulondoola bakozesa bodaboda era n’emmotoka baagiyitako nga tebabategedde.

Abatemu bwe baava e Mpigi, emirongooti gy’essimu giraga nti amakanda baagasimba Namirembe era ab’ebyokwerinda baba bakyayigga mu mayumba g’e Namirembe ate abatemu ne badda ku Sir Apollo Kaggwa mu bitundu ebiri okumpi ne wooteeri ya Chez Johnson.

Awo nawo baddukawo mangu ne beeyongerayo e Kawanda kyokka nawo tebaamalawo kiseera kiwanvu ne badda e Matugga we baasinze okulwa.

Kiteeberezebwa nti e Matugga gye babadde batulugunyiza ennyo omuwala okutuuka n’okumusalako engalo.

Bino byonna bambega babituuseeko nga bagoberera emirongooti gy’essimu ze babadde bakozesa.

Muhangi yagambye nti omulambo gwagenze okuzuulibwa nga baayimirizza ebikwekweto oluvannyuma lw’okutegeezebwa nti abazadde baasisinkanye Pulezidenti ne bamusaba abawe omukisa bawe abasajja ensimbi bataase obulamu bwa muwala waabwe.