Ab'e Lwengo beetabye mu mmisa y'okujjukira Felix Kaweesi

Ab'e Lwengo beetabye mu mmisa y'okujjukira Felix Kaweesi

Bannaddiini abakulembeddemu okusaba e wa Kaweesi

Bya Florence Tumupende

OLWALEERO abantu omuli ab'enganda, ab'emikwano, bannaddiini ssaako ne bannabyabufuzi bakung'aanidde mu mumaka g'eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga omugenzi Andrew Felix Kaweesi mu kusaba okw'okujjukira bweguweze omwaka mulamba bukyanga Kaweesi afa.

Okusaba kuno kubadde mu maka ga Kaweesi agasangibwa e Kitwe Kyanjozu mu Disitulikiti ye Lwengo era nga kukulembeddwaamu Fr John Fitcher Kiyimba ng'ono akubirizza abantu okubeera abakkakkamu obutawoolera ggwanga wabula banyiikire okwekwasa Katonda yajja okubawa okusalawo okutuufu.

Fr.Kiyimba alaze obw'ennyamivu olwa alipoota ekwatagana n'okufa kwa Kaweesi okutuuka kati nga terabikangako n'asaba b'ekikwatako okukissa mu nkola famire y'omugenzi osanga lw'eneefuna ku buweerero.

Mungeri y'emu alabudde abantu okukomya okuyaayanira ebyensi kuba bivuddeko abantu bangi okufa era n'asaba abantu okuyigira ku mugenzi Kaweesi eyafa kati omwaka gumu naye nga alinga atannafa olw'ebyo ebintu amakula bye yaleka akoze ssaako n'okwagala eddiini .

Muhammed Kirumira naye abaddewo nnyo mu kusabira Kaweesi era ensonga enkulu eyasinze okumutwala kwekubatwalira omwana aba Famire ya Kaweesi bamulabeko oluvannyuma lw'okumubbulamu erinnya ly'omugenzi Kaweesi.