Kitaawe wa Agaba , agambibwa okutta Magara ayogedde

Kasaija Rusoke 60, kitaawe wa Agaba, mutuuze mu kibuga ky’e Hoima era gye twamusanze ng’ali mu nnaku olw’engeri mutabani we gye yateekeddwaako omusango omunene gw’atamanyi ngeri ki gy’anaaguvvuunuka.

 Agaba

Yagambye nti mutabani we ekituufu mugagga, kyokka nga ssente tazikoze mu bumenyi bw’amateeka.

Yagambye nti, yasooka kukolera kkampuni ya Airtel mu Kampala nga bwakola n’ogw’okusuubula nga tannagenda South Afrika.

Yategeezezza nti, ye yawa mutabani we ssente obukadde 10 ze yatandisa okusuubula era yaziggya mu ttaka lye yatunda e Rwenkuba mu ggombolola y’e Bukuju mu disitulikiti y’e Kabarole.

Agaba yasooka kusuubula masimu e Kenya nga bw’agaleeta mu Uganda, kyokka oluvannyuma kitaawe agamba nti yaddamu okumulaba ng’avuga emmotoka ez’ebbeeyi n’amutegeeza nti eby’amasimu yabivaamu kati asuubula mmotoka e South Africa.

Agamba nti, abadde yamusuubiza okumuzimbira amaka ag’omulembe era ng’abadde yamugulira ne poloti e Butema mu disitulikiti y’e Hoima. Rusoke yatangaazizza ku bigambibwa nti Agaba alina oluganda ku Magara n’agamba nti si bituufu kuba tebalina kakwate konna era n’eddoboozi eriri mu katambi teririna ngeri gye likwataganamu na lya mutabani we.

Yannyonnyodde nti, akakwate k’amanyi ku famire y’omugenzi Magara gwe mukwano omugenzi Mary Maureen Kabayanja (azaala Susan Magara) gwe yalina ne mukyala we naye eyafa Kossy Kabezera Kasaija, nnyina wa Patrick Agaba.

Magara baamuwamba February 7, 2018 ne bazuula omulambo gwe nga February 27, ku kyalo Birongo Kitiko ekiri ku luguudo lwa Entebe Express Way wakati wa Kajjansi ne Kigo. Omulambo, omusajja eyali akedde okukuba Bukedde 3 amawulire Lwakubiri March 20, 2018 Poliisi eraze abeekiise mu by’okuzza agambibwa okwenyigira mu kutta Magara bbulooka ye yagulaba n’ayita abatuuze abaategeeza poliisi. Yategeezezza nti Agaba yazaalibwa Bujumbura mu 1983.

Yasomera Hoima Public Primary school, Sir Titto Winyi S.S wamu ne Entebbe Secondary School. Yeegatta ku yunivasite y’e Makerere naye n’atamaliriza olw’ebizibu bya ssente. Rusoke mutabani we amumanyi ng’omuvubuka omucakaze nga buli kintu ky’akozesa kya bbeeyi era ku ntandikwa y’omwaka guno yatwala mikwano gye mu kyalo ne bagenda ku nnyanja Muttanzige ne banyumirwa obulamu.