Mbabazi, eyali muninkini wa Kaweesi ebintu byongedde okumubijjira

EBY’OMUKAZI Christine Muhoza Mbabazi, agambibwa okubeera muganzi w’eyali omwogezi wa poliisi omugenzi, Andrew Felix Kaweesi, ng’ono yasibirwa mu makaage ekitongole ekikessi mu ggwanga ekya ISO kati emyezi musanvu emabega, byongedde okumwonoonekera.

 Abaserikale munda mu kikomera ewa Mbabazi (mu katono)

Okuva pulezidenti bwe yakyusa omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kaihura n’akulira ebyokwerinda eby’omunda, Mbabazi yeeyongedde okutya ng’agamba nti kati naye tamanyi kiki kiddako mu bulamu bwe kubanga naye awulira ayagala addizibwe eddembe lye, ateebwe okuva mu busibe bw’amazeemu kati emyezi musanvu.

Agamba nti abaali bakulira ebitongole ebyamukwata bombi baakyusiddwa ne kitegeeza nti kati takyamanyi ani amuvunaanyizibwako na kiki ekinaddirira.

Mbabazi agambibwa okumanya era oba n’okwenyigira mu lukwe olwatta Kaweesi era ng’ebitongole ekya Poliisi ne ISO bibadde bimulwanira nga biringa ebigamba nti yeeyeetooloolwako okunoonyereza mu kufa kwa Kaweesi.

Ebyo bibadde bikyali awo, ate omukyala ono ayolekedde okugobwa mu nnyumba mw’asula e Lungujja mu zooni ya Ssendawula, olwa nnyiniyo okulinnya enkandaggo olw’obutamusasula ssente obukadde 280 ezaasigalayo Mbabazi bwe yali agula ennyumba eno.

Twagudde ku kiwandiiko kya kkooti enkulu kye yaweereza Mbabazi mu December w’omwaka oguwedde 2017, nga nnannyini nnyumba eno ategeerekese nga Clifford Geofrey Ssennyonjo bwe yali aloopye ng’ayagala kkooti eragire Mbabazi ave mu nnyumba oba asasule ssente ezimubanjibwa.

Kkooti yawandiikira Mbabazi era omu ku baserikale abamukuuma ewuwe ayitibwa Peter Okello ye yateekako omukono okulaga nti kyali kituuse gye kiraga, kubanga eyakitwala teyakkkirizibwa kulaba Mbabazi olwebyokwerinda ebiriyo.

Wadde nga kkooti essaawa yonna yaakuwa ekiragiro ekigoba Mbabazi mu nnyumba, naye akyali mu busibe mu makaage takkirizibwa kufuluma wadde okukyaza omugenyi, awakaawe wakyakuumwa amagye agateekebwayo omukulu w’ekitongole kya ISO Col. Frank Kaka Bagyenda.

 Ekiwandiiko kino kiraga nga Ssennyonjo bw’abanja ssente obukadde 300, wadde twagezezaako okumunoonya abeeko ky’ayogera ku nsonga eno, tetwasobodde kumufuna olw’obutakwata masimu ge.

Ekiwandiiko kiraga nti , Mbabazi yakola endagaano ne Ssenyonjo nga 01/07/2017 ey’okugula ennyumba eno ku bukadde 300, wabula n’asasula obukadde 20, bateesa nti singa aba tasasudde ssente ezisigaddeyo obukadde 280 nga November 30, 2017, zino ze yasasulako obukadde 20 baali bakuzibalamu bupangisa ave mu nnyumba.

Wabula ennyumba eno Mbabazi yali yaakagisulamu emyezi ebiri gyokka, ate ne bamukwata ne bamusibira awakaawe nga September 15, 2017 n’okutuusa kati tateebwanga, ebbanga ly’okusasulirako ssente lyaggwaako emyezi ena emabega, teri ayamba ekyaleetedde nnannyini nnyumba okuddukira mu kkooti emuyambe.

Waliwo ow’okulusegere lwa Mbabazi ataayagadde kwatuukiriza mannya ge eyatubbiddeko nti, wadde nga Mbabazi ye yakola endagaano y’okugula ennyumba, naye ekitongole kya ISO ekikulirwa Kaka kye kyali kisasulira Mbabazi ennyumba ku biragiro okuva waggulu.

Nga kino baakikola kubanga baali bakizudde ng’aliko obujulizi obw’amaanyi bw’alina mu musango gw’okutemulwa kw’eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga, omugenzi Andrew Felix Kaweesi.

Wabula ate mu kaseera katono, nga September 15, 2017 Mbabazi yasibirwa mu makaage olw’okwekengera nti waaliwo abantu abaali bayinza okumutuusaako obulabe nga bategedde nti alina obujulizi obubalumika mu musango guno.

Nti era bino bye bimu ku biruma Mbabazi, okumusibira awaka takyakola, tasobola kubaako ngeri yonna yaakwerwanako kutaasa nnyumba butagenda ate nga n’ekitongole ekyamusiba tekimuyamba.

Kigambibwa nti ekitongole kya ISO kiri mu kunoonyeza Mbabazi ennyumba endala ey’okupangisa mwe banaagira nga bamukuumira.