Makerere yunivasite yejjuludde ku by'okuyimiriza okusomesa akawungeezi

AB’E Makerere babataddeko akazito ne baseseetula ku by’okulekeraawo okusomesa abayizi akawungeezi.

 Polof. Nawangwe, amyuka cansala wa Makerere University

Ritah Namisango omwogezi wa yunivasite y’e Makerere yagambye abaamawulire nti amyuka Cansala, Polof. Barnabas Nawangwe baamukutte bubi ku ky’okuwera okusomesa akawungeezi.

Yategeezezza nti okusomesa akawungeezi tekwawereddwa, kyokka amabanguliro ag’enjawulo (colleges) ge gasigazza obuvunaanyizibwa bw’okuyingiza n’okusomesa abayizi bwe kinaaba kyetaagisizza.

Amabanguliro ag’enjawulo agawulira nga metegefu okusomesa akawungeezi gasabiddwa okutegeeza yunivasite ku bwetaavu n’engeri gye bagenda okusomesaamu abayizi. Olukiiko olufuga yunivasite oluvannyuma bajja kulanga ku lwa mabanguliro ago abayizi basobole okusaba.

Buli bbanguliro (college) lirina okulaga obusobozi bw’okusomesa abayizi akawungeezi nga tebayingizzaamu lukiiko luddukanya yunivasite yonna.

Polof. Nawangwe ku Lwokutaano yasinziira mu lukiiko lwa bannamawulire n’ategeeza nti olukiiko olufuga yunivasite olwatuula nga March 14, 2018 lwasalawo nti abayizi bonna abatandika mu mwaka gw’eby’ensimbi ogwa 2018/2019 balina kusoma ku makya oba olw’eggulo.

Namisango yagambye nti enkola egenda okusigala ng’eddukanyizibwa yunivasite ye y’abayizi okusoma ku makya n’olweggulo.

Ku makya kitegeeza okusoma wakati w’essaawa 2:00 ne 11:00 ez’olweggulo. Ate abasoma olweggulo basome wakati w’essaawa 8:00 ne 12:00 ez’akawungeezi.

Yunivasite okweggyako obuvunaanyizibwa bw’okusomesa akawungeezi kigendereddwamu okweggyako obuvunaanyizibwa bw’okusasula ensako ezibadde zisasulwa olw’okusomesa akawungeezi.

Okuva mu August wa 2016, wabaddewo okwekalakaasa kw’abasomesa nga baagala okubongera ku nsako olw’okusomesa ng’obudde buyise mu bwe balina okusomesa.

Yunivasite ebadde ebagamba nga bw’etalina ssente ekyaviirako yunivasite okuggalwa mu November wa 2016 ne wateekebwaawo n’akakiiko akaakulirwa omugenzi Dr. Abel Rwendeire.

Nawangwe yategeezezza nti ssente ze baali bakuηηaanyizza okuva mu bintu eby’enjawulo zizze zikendeera.

Yunivasite eyali ekuηηaanya obuwumbi 120 kati ekuηηaanya obuwumbi 90 olw’okukendeera kw’abayizi.

Makerere w’etuukidde okwekyusa ng’abantu abawerako bagitaddeko akazito olw’okuyimiriza okusoma kwa kawungeezi.

Connie Nakayenze (mukazi/Mbale) ssentebe w’akakiiko k’ebyenjigiriza mu Palamenti yagambye nti kyamukanze okuwulira nti Makerere eggyewo okusomesa kwa kawungeezi.

Ekyakoleddwa kyakwatiddwa bubi kuba baakisudde lumu ku bantu. Yasuubizza ng’akakiiko ka Palamenti bwe bagenda okusisinkana abakulira Makerere wiiki ejja babanyonnyole kwe baasinzidde nga bayisa ekiragiro kino.