Ebipya bizuuse ku musajja agambibwa okugulira abazigu abaasobezza ku mukazi we ne bamutta!

Poliisi eyongedde okuzuula ebikwata ku bba w’okukazi Charity Kyohairwe, agambibwa nti ye yaluse olukwe lw’okumuwamba n’asaba famire ye ssente obukadde butaano ate n’amala n’amutta.

Kyohairwe ne Monday gwe baakutte.

Monday Batulayine, okujja mu Kampala yava Mityana, era abadde muvuzi wa bodaboda.

Charity w’afiiridde abadde abeera yekka oluvannyuma lw’okwawukana ne bba (Monday Batulayine) ate abaana baabwe ababiri omugenzi yali yabatwalira nnyina Grace Muhwezi mu kyalo e Mitooma.

Famire y’omugenzi yategeezezza Bukedde nti, bwe baali tebannayawukana, omugenzi yateranga okubakubira essimu nga yeemulugunya ku bba olw’obutamuwa buyambi.

Kigambibwa nti nnyina w’omugenzi, Grace Muhwezi, yakubira Batulayine essimu n’amutegeeza nga mukazi we bw’awambiddwa kyokka omusajja n’addamu ng’abalaata nti, “Tannaba, yangoba awaka ng’alowooza nti alina abamukuuma, kaakirabe”.