Abdul Mulaasibamubbyeeko omuwala ne yeecwacwana

Abdul Mulaasibamubbyeeko omuwala ne yeecwacwana

OMUYIMBI akoze faamu y’abakazi ng’eya Abdu Mulaasi n‘asigula n’omu ku bakazi bomu faamu ya Mulaasi. Omuwala ayogedde ebyama ebisattizza Mulaasi. Omuyimbi eyeeyita Biba Uganda yeyapasudde Shakira,abadde omu ku baninkini ba Mulaasi n’amutwala mu ffaamu ye olwo Mulaasi n’alya obuwuka.

Biba agamba nti Mulaasi amutiisatiisa era omusango agutwala mu mateeka bw’atamuvaako. Annyonnyola nti, omuwala Shakira gw’amuwalanira yeereeta yekka mu faamu ye kyokka Mulaasi agamba nti yabbayo mubbe.

Ekisinga okuluma Mulaasi ye muwala ono okwogera ebibeera mu faamu ye omuli Mulaasi okukuhhaanyanga abawala abangi kyokka nga tabamalira byetaago byabwe byonna. Shakira agamba nti baba beetaaga ssente wabula tezibamala ate nga bwe babeera mu faamu, Mulaasi abakozesa emirimu mingi omuli okuyimba, okuzina, basiiba mu situdiyo nga bakwata ennyimba ne babula n’obudde obukola emirimu emirala omuva ensimbi. Shakira agamba nti n’abaali abafumbo butuuka ekiseera ne bukulema era buba olwo n’ogenda naye (Abdu Mulaasi).

Kyokka Abdu Mulaasi agamba nti, Biba yeeyiiya bweyiiya kwogerwako kubanga n’ebyokumutiisatiisa by’ayogerako ye tabimanyi. “Maze ebbanga ne faamu y’abakazi era si nnyangu.

Oyo ayogera ebyo tannamanya kye kitegeeza naye agenda kukiwulira. Abakyala abo okubabeezaawo kizibu, ebyetaago byabwe bingi. Kaakati ate oyo agamba nti yali mu faamu yange n’agenda yali wa ddembe okugenda naye ebyo by’amala googera nze sibimanyi.” bwatyo Abdu Mulasi bwe yategeezezza.

Bino we bijjidde nga faamu ya Mulaasi yakendeera amaanyi okuva lwe yakuba “Swimming pool, Sauna n’endala ezaakwatayo, abadde taddangamu kukuba nnyimba z’amaanyi era abakyala abamu faamu baagiddukamu dda