
OMUYIMBI Eddie Kenzo eyawangudde engule eziri ku ddaala ly’ensi yonna bbiri mu wiiki emu bamwanirizza nga muzira mu ggwanga.
Yasoose kuwangula ngule ya ‘Best African entertainer’ mu mpaka za International Reggae and World music Awards (IRAWMA) ezaabadde mu Amerika kuno kwe yagasse n’eya sereebu asinga okusanyusa abantu mu Afrika (Favourite African Star) mu mpaka za Nickelodeon Kids’ Choice Awards era okuwangula engule eno yamezze baseerebu be yabadde avuganya nabo okuli; omuyimbi Diamond Platnumz (Tanzania), Davido (Nigeria), Cassper Nyovest (South Africa), omuddusi w’emisinde Caster Semenya (South Afrika) ssaako omuyimbi ate nga muzannyi wa komedi, Emmanuella (Nigeria).
Ng’akabonero okumusiima n’okumujagulizaako obuwanguzi bwe yatuuseeko ng’omuntu ne Uganda,
Kenzo yatuuse mu ggwanga mu kiro ekikeesezza olwaleero nga yasoose ku bbaala ya Auto Spa gye yayaaniriziddwa abawagizi abaabadde bamulindiridde okuva eggulo emisana.
Leero ku makya akedde ku tterekero ly'ebyafaayo (Uganda Museum) e Kamwokya gy’ayaniriziddwa abawagizi abalala nga bakulembeddwaamu, Stephan Asiimwe akulira ekitongole ky’ebyobulambuzi mu ggwanga (Uganda Tourism Board).
Eno Kenzo awaddeyo engule ze ssatu (3) okuli n’eya BET ziteekebwe mu Museum ng’ekyobulambuzi n’okusikiriza emigigi emito okwagala n’okuwagira ensike y’okuyimba.
Mu kwogera yasabye gavumenti okuwagira ensike y’okuyimba ng’eteeka ssente mu bayimbi n’okubaako ebintu ebirala by’ebakolera kibazzeemu amaanyi kubanga nabo bakoze kinene okuwanika bendera y’eggwanga n’okutunda Uganda mu nsi z’ebweru.
“Nsaba gavumenti nga bw’ewagira emizannyo ng’eteekamu ne ssente naffe mu nsike y’okuyimba ekikole. Kyewuunyisa okulaba nga Omutanzania Diamond Platnumz gwe nawangudde olw’okuba yavuganyizza eweabwe yatuukidde wa Pulezidenti ekitali ku ffe Bannayuganda,” Kenzo bwe yagambye.
Asiimwe eyakiikiridde minisita w’ebyobulambuzi yeebazizza Kenzo olw’amaanyi g’atadde mu myuziki n’obuwanguzi bw’azze atuukako era ne yeeyama ku lw’ekitongole ky’akulira ne ku lwa minisitule ebatwala okuwagira Kenzo n’abayimbi abalala.