Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu Julius Nyanzi tukulaze ekika kya kalittunsi ky'olina okusimba

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu Julius Nyanzi tukulaze ekika kya kalittunsi ky'olina okusimba

 Emiti gya kalittunsi wa Lemon.

WIIKI bbiri eziyise, nzize nkulaga ebintu eby’enjawulo by’osobola okusimba n’ofunamu ssente ng’enkuba ekyatonnya ne nkulaga n’ekirime kya flax. Leero kankuzigirire ku kalittunsi wa ‘Lemon’, ono yasimbibwa nnyo e Bunyoro.

Abangereza bwe baali bava e Bunyoro baasala kalittunsi ne bamutwala ewaabwe, era embaawo ze baggyamu ezimu baazikozesa mu kuzimba entindo n’ezimu ku ntebe eziri mu palamenti yaabwe. Kalittunsi ono Abangereza baali bamulabyeko mu Australia, era e Bunyoro si be baamuleeta wabula baamusanga yasimbwayo.

Kalittunsi ono alina akawoowo ka ‘lemon’, talina masanda gonoona ttaka nga bw’olaba ku kalittunsi owaabulijjo. Era osobola okumusimba n’oteeraliikirira nkuyege. Akula mangu, avaamu ebintu ebirina emigaso egy’enjawulo. Ebikoola osobola okukolamu obuwoowo, ebibajjo osobola okukolamu eddagala ly’ekifuba ate amatabi okolamu amanda aganuuna obutwa mu mubiri.

Ekitegeeza kalittunsi osobola okumulima n’akuyamba mu bulamu n’okukola ssente. Mu yiika weetaaga endokwa 100. Togenda kukozesa bigimusa ate tayonoona ttaka. Ku mwaka gumu otandika okumunogako amakoola, buli kkiro ngigula 300/- ne nkamulamu obuwoowo. Bw’oba oyagadde nsobola okukusomesa bw’oyinza okubukamulamu era nabwo ne mbugula.

Endokwa za kalittunsi wa Lemon.

Osobola okumusimba ebbali w’ennimiro n’akola nga olukomera. Mu mbeera eno akuyamba okugoba enkima olw’akawoowo akamuvaamu akazikoloza ate tekalina bulabe ku bantu.

Amajaani agava mu kalittunsi gayamba ku bantu abafuluuta olw’okwoza ekiwanga. Kalittunnsi agoba ensiri, era bw’oba omusimbye awaka ajja kuzigoba. Osobola okumukozesa okunaaza ensolo zo awaka okuli embwa, kkapa n’endala obutafuna lusu. Osobola okumukozesa mu kwoza ebiyigo, ekiyamba okutta obuwuka mu kaabuyonjo abantu ne batalwala yinfekisoni.

Wabula ku myaka musanvu, ojja kuba omusalamu embaawo ate ku myaka ena aba asobola okukuwa enku. Amakoola gasobola okukuwa evvu ly’osobola okukozesa mu kukuuma ennyaanya ne zitanvunda mangu ng’omaze okuzinoga. Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.