Kadaga alaajanidde Abazungu ku muwendo gw'abanoonyi b'obubudamu abakyayiika mu Uganda

SIPIIKA Rebecca Kadaga ategeezezza nti Uganda yetaaga obuyambi bw’ensimbi okuva ebweru kigisobozese okulabirira abanoonyi b’obubudamu okuva mu mawanga amalal abayiika wano buli kaseera.

 Kadaga

Uganda erimu abanoonyi b’obudaamu akakadde kamu n’emitwalo 30. Ku bano akakadde kamu bava South Sudan,ng’abalala b’e Congo, Somalia , Burundi n’ewalala.

Kyokka era (Uganda) yakkirizza okwongera okuleeta muno abanoonyi b’obubudamu abaalala Yisirayiri beeyagala okweggyako.

Kisuubirwa nti December 2018 w’anaatuukira abanoonyi b’obubudamu bajja kuba bakununkiriza mu bukadde bubiri.

Wabula sipiika eyabadde asisinkanye ekibinja ky’abakungu okuva mu kibiina ky’amawanga amagatte yagambye nti amawanga g’ebweru gawaana Uganda olw’ekisa ekingi eky’okulabirira abanoonyi b’obubudamu, kyokka yeetaaga okwongera okuyambibwa kuba ne bannansi nabo beetaaga okulabirirwa ng’ensimbi n’ebikozesebwa ebirala ebiriwo tebimala.

Yagambye nti Uganda etandise okwewola ssente okusobola okulabirira abanoonyi b'obubudamu abeeyongera buli lukya.

Abakungu abaasisinkanye Kadaga mu Kampala baavudde mu bitongole by’ekibiina ky’amawanga amagatte okuli; UNDP, UNOPS, UNICEF , UNFPA, WFP, ne UN women.

Abakungu bano bali mu Uganda okulaba engeri ebitongole byabwe gye biyambye enkulaakulana mu Uganda.

Kadaga yagambye nti enguudo  ezimu zoonoonese olw’ebimotoka ebyetikka obuyambi nga bibutwalira abanoonyi obubudamu so nga ebyalo ebimu byetaaga nnayikonto n’amazzi amalungi olw’abantu abangi ababirimu nga muno mw'otwalidde n’abanoonyi b’obubudamu.

Kyokka yeebazizza ebitongole ebigaba obuyambi olw’okuyamba Uganda mu ngeri ezitali zimu omuli okulwanyisa enkyukakyuka z’embeera z’obudde.

Eyakulembedde ekibinja kino, Mw.  Jagdish Koonjul, yeebazizza Uganda olw’okulabirira abanoonyi b’obubudamu n’asaba Uganda obutaggala nsalo zaayo kugoba abanoonyi b’obubudamu kuba kirabise bagenda kweyongera.