Ababaka baagala Palamenti eyingire mu nsonga za poliisi ne ISO

Ababaka baagala Palamenti eyingire mu nsonga za poliisi ne ISO

ABABAKA baagala Palamenti eyingire mu nsonga z’okukoonagana wakati wa poliisi n’ekitongole ekikessi eky’omunda ekya ISO. Kino kiddiridde abaserikale ba ISO okukuba aba poliisi amasasi ku Ssande e Mugongo Kyengera agattiddewo omu, Rogers Ssimbwa ate banne abana bwe baabadde okwabadde; Francis Bayega, Alex Jojo, Balaam Nuwagira ne Zakaria Nato ne bakwatibwa.

Ababaka baategeezezza nti baasanyukira okuggyibwawo kwa Kale Kayihura eyali omuduumizi wa poliisi ne Gen. Henry Tumukunde eyali minisita avunaanyizibwa ku by’obutebenkevu mu ggwanga nga bamanyi nti kyali kyakumalawo akaleega bikya akaaliwo.

Kato Lubwama (Lubaga South) yategeezezza nti, wadde nga Kayihura yavaawo kyokka wakyaliwo obuzibu bwa magye okwagala okulaga poliisi nti babasinga amaanyi. Yategeezezza nti bandiba nga baliko ssente ze bakaayanira.

Muyanja Mbabaali (Bukoto South) yennyamidde olwa baserikale bapoliisi okuba nga bakyenyigira mu bubbi n’asaba Okoth Ochola okulwana okutereeza ekitongole kyakulembera.

Francis Zaake (Mityana Munisipaali) yavumiridde okulwanagana kwe bitongole byokwerinda ebyandibadde bikwatira awamu ne bamalawo obumenyi bw’amateeka n’ategeeza nti obuzibu bukyali bunene n’okusinga okukyusa abakulira ebitongole. Gilbert Olanya (Kilak South) yagambye nti ebiriwo kabonero akalaga engeri abantu gye bakozesaamu obubi emmundu.

Yawadde ekyokulabirako nti, osanga abaserikale nga bakaalakaala n’emmundu ne mu bufunda nga banywa omwenge. Ababaka we baasabidde palamenti nga poliisi ne ISO bamaze ekiseera nga balaga obutakwatagana, ku kunoonyereza ku fayiro y’omugenzi Andrew Felix Kaweesi ebitongole byombi byakaayanira mu kunoonya abatemu nga buli kitongole kyagala kikulemberemu.

Waliwo ne Paddy Serunjogi (Sobi) lwe yaleetawo okusika omuguwa ekyatuusa ne poliisi okumukwata, kyokka ISO n’emuyimbula okuva mu kkomera e Nalufenya.

POLIISI EKYANOONYEREZA KU BASERIKALE BAAYO

Patrick Onyango, amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga yagambye nti mu kiseera kino bakyanoonyereza ku ngeri abaserikale baayo bwe baatuuse e Kyengera we baafunidde obuzibu. Yagambye nti abaserikale baabwe bwe kinaasangibwa nga baabadde bagenze kubba bajja kutwalibwa mu kkooti z’amateeka, kyokka bwe baba nga tebagoberedde mitendera mituufu baakusimbibwa mu kakiiko akakwasisa empisa.

BABIYINGIZZAAMU OKUBBA EMBAAWO

Waliwo ensonda ezaategeezezza nti waliwo omuserikale wa ISO aliko ddiiru gye yakutula n’Abarundi ng’ayambibwako abaserikale b’e Katwe. Kyokka olwamaliriza omulimu n’agaana okubasasula.

Abaserikale okufuna obuzibu yabadde abagambye okujja e Kyengera abasasule. Kyokka kano yabadde abateze kakodyo era yatemezza ku bakama be nga bwe yabadde agudde mu lukwe lwababbi era aba ISO ne beetegeka bulungi.

Abaserikale olwabadde okuyingira mu kikomera amasasi ne geesooza okukakkana nga Rogers Simbwa attiddwa n’abalala bana ne bakwatibwa.