Abaagalana abeewamba ne bakanda aba famire ssente basindikiddwa Luzira

Peace Ansiimirwe 19, ow’e Bushenyi asindikiddwa ku limanda e Luzira lwa kwewamba n’asaba aba famire obukadde busatu.

 Atwebembire ne Ansiimirwe (ku ddyo) nga bali mu kaguli.

Ansiimirwe yasimbiddwa mu kkooti ne muganzi we Julius Atwebembire 22, bombi ne bavunaanyizibwa okwekobaana ku by’okwewamba.

Kigambibwa nti Ansiimirwe yava ku ssomero e Bushenyi nga April 23, 2018 najja mu Kampala ewa Atwebembire ne bakubira nnyina Scovia Nahabwe ow’e Bushenyi ne basaba obukadde busatu n’aweereza ssente 750,000/- okutaasa muwala we okuttibwa.

Omusango guli mu kkooti ya Buganda Road. Bakomawo nga May 18, 2018.