Aludde ng'atigomya ab'e Mutundwe bamukutte

POLIISI y’e Kabowa ekutte n’eggalira omuvubuka Abdu Busuulwa, 24 omutuuze w’e Nalukolongo gwe bateeberezza okuba mu kibinja ky’abantu ebeenyigira mu kuwamba n’okutta abantu, saako okuyingira amayumba g’abantu n’abanyagulula.

 Busuulwa eyakwatiddwa olw'okunyaga ab'e Nalukolongo ne Mutundwe ng'ali ku poliisi e Kabowa.

Busuulwa bamukwatidde mu bitundu by'e Wankulukuku ng'atambula mu makya ga leero ku Lwokutaano.

Juma Habende, omu ku bakola ku bikwekweto ku Poliisi y'e Kabowa y'aduumidde abakutte Busuulwa.

Habenda agambye nti, baludde nga bamunoonya ku misango egyenjawulo omuli; okuyingira amayumba g’abantu nga mwe bali n'anyaga, ekiviiriddeko abakuumaddembe okumwekengera ne bamukwata.

Busuulwa asangiddwa n’enjaga mu nsawo, wabula ne yeegaana eby’okwenyigira mu kiwamba bawala n’ekitta bantu n’agamba nti ekizibu kye kimu kya kunywa njaga n’okubba ebintu ebitonotono, naye teyeenyigirangako mu butemu.

Abantu ab’enjawulo okuva e Mutundwe ne Nalukolongo beeyiye ku poliisi okulumiriza Busuulwa okubanyagako ebintu byabwe, bazze n’ennamba za fayiro kwe baamuggulirko  egy’enjawulo era abadde anoonyezebwa.

Vincent Bright, atwala poliisi y’e Kabowa agambye nti, bafunye abantu abawerako abalina emisango ku Busuulwa n'asaba n’abalala abamulinako okwemulugunya bajje n’obukakafu bwonna bukung'aanyizibwe olwo fayiro ziweerezebwe eri omuwaabi wa gavumenti bamutwalwe mu kkooti avunaanibwe.

Busuulwa bamuguddeko emisango egyenjawulo ku fayiro SD: 23/25/05/2015.