Abazadde muwerekera abaana bammwe ku masomero - Kayima

POLIISI esabye abazadde okutwala abaana baabwe ku masomero okumalawo obuzibu bwonna okubatuukako nga olusoma lwa ttaamu ey’okubiri lugguddewo.

 Emilian Kayima, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga ng'ayogera

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Emilian Kayima yagambye nti abazadde bafeeyo okwetwalira abaana babwe ku masomero nadala ab’ebisulo  babakwase abasomesa kuba waliwo abamu abajja okwebulankanya baleme kutuuka baletewo embeera nti bawambiddwa.

“Olusoma lwa ttaamu ey’okubiri lugguddewo era abazadde tubasaba bwemuba mutwala abaana bammwe ku masomero mu bakwase abasomesa baabwe kuba kino kijja kuyamba okubatangira okwesembereza abantu be batamanyi nga bayinza okubawamba nga bwe kyabadde ku baawambidwa ku paaka enkadde,” Kayima bwe yategezezza.

Yagambye nti waliwo abayizi abamu naddala abawala abajja okusalawo obutatuuka ku ssomero basibire mu mikano gyabwe nga bano nabo bayinza okuteekawo embeera y’okwewamba nga bakolaganye ne baganzi baabwe n’ekigendererwa eky’okufuna ssente mu bazadde baabwe.

Mu ngeri yeemu Kayima yasabye abazadde  okukwatagana ne bannannyini masomero bababuulire abantu abatuufu abalina okunona abaana baabwe ku masomero  kiyambe okulwanyisa abazigu abayinza okukozesa omuwaatwa ogwo okulimba nti batumiddwa okunona abaana.