Museveni agugumbudde offisi ya Kaliisoliiso

Museveni agugumbudde offisi ya Kaliisoliiso

 Kaliisoliiso wa Gavumenti Irene Mulyagonja ng'ali ne Museveni

PULEZIDENTI Museveni mu kwogera eri eggwanga yaggugumbudde Kaliisoliiso wa Gavumenti, Irene Mulyagonja olw’okulemererwa okulwanyisa enguzi n’alangirira nti ataddewo akakiiko ak’enjawulo okuyambako.

Museveni yatuuse n’okubuuza oba abakozi b’omu ofiisi ya Kaliisoliiso abantu babalinamu obwesige kubanga singa bwe guli, bandibadde babaloopera abali b’enguzi. Yalangiridde akakiiko akakulirwa, James Tweheyo eyali mu kibiina ky’abasomesa (UNATU) nga waakukola ne Martha Asiimwe n’omubiikira Mary Grace Akiror.

Abamu bagamba nti ensonga za Mulyagonja zandiba nga zeekuusa ku lutalo lw’abaddemu ne Bank of Uganda ate abalala bagamba nti alina akakundi k’abanene kakkiririzaamu olwo abatali mu kakundi ako ne balwana nga balumiriza nto be bokka b’anoonyerezaako mu by’enguzi.

Mulyagonja yagambye nti, okusoomooza kw’asanze mu kulwanyisa enguzi kuli ku ssente entono ofiisi ye z’efuna n’agamba nti Pulezidenti yandimwongedde ensimbi na bakozi. Yagasseeko nti n’abali b’enguzi bangi bwe bamala okubataayiza, ate abamu baddukira wa Pulezidenti okwetaasa, ne kikaluubiriza emirimu gyabwe.

Mulyagonja ali mu kisanja kye ekyokubiri kya myaka ena, Pulezidenti Museveni kye yamwongedde mu July 2016. Agamba nti waliwo bannabyabufuzi abamulwanyisa olw’okugaana okukolera ku biragiro byabwe.

Mulyangonja eyali omulamuzi wa Kkooti Enkulu yadda mu kifo kya Faith Mwondha mu 2012. Wabula ensonda zaategeezeza nti Pulezidenti yatandika okuggwaamu essuubi olw’engeri emisango egy’obuli bw’enguzi egitwalibwa ewa Kaliisoliiso obutakolebwako.

Egimu ku misango Pulezidenti gy’alowooza nti Kaliisoliiso takikutte n’amaanyi kuliko; Abaalya ssente ez’oluguudo lw’e Katosi Gavumenti mwe yafiirizibwa obuwumbi nga 33, ettaka lya UBC Gavumenti mwe baaginyagira obuwumbi nga 10 ne ddiiru endala eziri mu kuliyirira bannannyini ttaka awayita enguudo.

Ebitongole ebisingamu kuliko; poliisi, abalamuzi, Palamenti ne Gavumenti Ezeebitundu. Lipoota ya Kaliisoliiso eya 2017 yalaze nti emisango 6,145 gye ginoonyerezeddwaako mu mwaka omulamba ng’emisango egyo gyeyongedde okuva ku misango 4,573 egyaloopebwayo mu 2016 .