E Arua bwe baalabye ku mulambo gwa Abiriga ne batabuka!

Ekyabadde e Arua ng'omulambo gwa Abiriga kuggyibwa ku nnyonyi: Abatuuze beekalakaasizza ne bookya pikipiki ya Poliisi ne Ambyulansi omwabadde omulambo.

Ekyabadde e Arua ng'omulambo gwa Abiriga kuggyibwa ku nnyonyi: Abatuuze beekalakaasizza ne bookya pikipiki ya Poliisi ne Ambyulansi omwabadde omulambo.

Ate abaabadde bakung'aanidde awaka baamenyemenye obutebi ne tenti ebyabadde bitegekeddwa okutuulwamu abagenyi.

Kino kyawalirizza Poliisi n'abaserikale okukuba amasasi mu bbanga okubagumbulula.

Wakati mu kavuyo abantu babiri baakubiddwa amasasi ne balumizibwa bya nsusso

Laba ebifaananyi

 

 Abasiraamu nga baggya omulambo gwa Abiriga ku nnyonyi

 Abamu ku baana ba Abiriga nga bali ku kisaawe balinda omulambo gwa kitaabwe

 Mmotoka ya ambyulensi omwabadde omulambo nga bagiteekedde omuliro

 Wano nga bawerekera omulambo gwa Abiriga ku bigere

 Abantu nga bamenya obutebe ne tenti

 Pikipiki ya Poliisi gye baakumyeko omuliro n'ebengeya