
POLIISI ekutte omuvubuka agambibwa okusaasaanya ebifaananyi bya muganzi we eby'obuseegu ku mikutu gya internet.
MEDISON Atuhaire Bushings, 35 , omutuuze w'e zzana ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ntebe y'akwatiddwa Poliisi oluvannyuma lw'okusaasanya ebifaanyi bya Hellene Kankunda agambabibwa okubeera muganzi we.
Hellen ategeezezza nti ono abadde muganzi we okumala ebbanga lya myaka ebiri wabula mbu kino yakikoze n'ekigendererwa ky'okwagala okumuswazaswaza n'okumugoba ku basajja bonna abaagala okumukwana
Mu kiseera kino Atuhaire ali ku kitebe ky'abambega e Kibuli gy'atwaliddwa okubuuzibwa akana n'akataano annyonnnyole kiki ekyamuviiriddeko okukola ekikolwa kino