Ssaabalabirizi Stanley Ntagali asigazza omukisa gumu

Ssaabalabirizi Stanley Ntagali asigazza omukisa gumu

 Stanley Ntagali

KKOOTI ewadde Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Stanely Ntagali omukisa ogusembayo okuteeseganya ne kkampuni ya Land Coin Ltd eyatwala ekkanisa mu kkooti lwa bbanja lya bbiriyooni musanvu n’obukadde 300.

Gwabadde mulundi gwakubiri ng’enteeseganya wakati w’ekkanisa ne kkampuni ya Land Coin zirema (eggulo), Ntangali n’abakungu abalala okuva mu kkanisa bwe bataalabiseeko. Omutabaganya eyabaweebwa Johnson Kwesigabo yawadde omukisa ogusembayo nga July 13, 2018