Abaakwatibwa ku by'okutta abawala bavunaaniddwa

Abaakwatibwa ku by’okutta abawala bavunaaniddwa

 Abamu ku bavubuka abaakwatibwa ku misango gy’okuwamba abawala n’okubatta nga batuusiddwa ku kkooti ya LDC e Makerere.

KKOOTI ya LDC e Makerere esomedde abasajja mukaaga emisango egy’okuwamba abawala n’okubatta. Abaasimbiddwa mu kkooti eyabadde ekubirizibwa omulamuzi w’eddaala erisooka, Roseline Nsenga.

Kuliko omusawo w’ekinnansi, Ali Ddumba, n’omulala Herbert Lukwago nga bateeberezebwa okuba nga babadde bakukusa okutunda ebitundu by’abantu eby’omunda. Abalala abavunaanibwa kuliko; Kamanda Mugabe, John Bosco Olwo, Frank Ssendi ne Brian Kaaya.

Omuwaabi wa Gavumenti, Rose Kiprorah yategeezezza omulamuzi nti abasajja bano bavunaanibwa okuwamba n’okutta abawala babiri okuli Rose Nakisekka eyawambibwa nga May 11, 2018 omulambo gwe ne bagusuula ku musajjaalumbwa.

Ono yawambibwa abatemu abaamukwatira mu paaka ya takisi empya nga May 10 ne batandika okupeeka bazadde be ssente kyokka n’asangibwang’attiddwa mu bukambwe nga May 11.

Omuwala omulala ye Rehema Halima Nabwanika eyattibwa omulambo gwe ne gusuulibwa e Makindye Ssaabagabo nga May 24, 2018. Abasajja bano omukaaga baatuusiddwa ku kkooti ya LDC ku ssaawa 4:30 ez’oku makya wakati mu by’okwerinda ebyabadde binywezeddwa mu kifo kyonna era ne batwalibwa butereevu mu kkooti.

Bano olwaggyiddwa mu mmotoka batandikiddewo okuleekaanira waggulu nga bwe balangira aba poliisi obunnanfuusi nga bagamba nga bwe baali bakola nayo mu kuziyiza obumenyi bw’amateeka kyokka kati babeefuulidde ne babassaako ebisangosango bye batamanyi.

Olwasimbiddwa mu kaguli omulamuzi yabasomedde emisango egy’okuwamba n’okutemula abawala, era omuwaabi wa Gavumenti ali mu musango guno Rehema Halima Nabwanika yategeezezza omulamuzi nti wakyaliwo obujulizi obukyanoonyezebwa okwongera okunyweza abasajja bano era n’asaba omulamuzi okwongerayo omusango. Omulamuzi omusango yagwongezzaayo okutuuka nga July 11.