Baagala UPDF egende mu butale okukwata abalina obwennyanja obuto

NG’EBIKWEKWETO by’okugoba abavubi ebeenyigira mu nvuba embi ku nnyanja Nalubaale bikyagenda mu maaso, abavubi ku mwalo gw’e Ddimo mu disitulikiti y’e Masaka basabye Pulezidenti Museveni alagire abajaasi ba UPDF be yakwasa omulimu guno batuuke ne mu butale etundirwa ebyennyanja ebito kubanga obutale buno kye kikyabasibyeko envuba embi.

Omuvubi ng’alaga empuuta enkuze n’engege ezikuze obulungi.

Baasinzidde ku mwalo gw’e Ddimo abajaasi we baakuba enkambi bwe baabadde bookya obutimba n’amaato agamenya amateeka ge baakwatira ku mwalo guno.

Baatenderezza Pulezidenti Museveni olw’enteekateeka eno kubanga ebyennyanja kati bizzeemu okukula nga nabo bazzeemu okufuna mu mulimu guno kyokka empulunguse z’abavubi abakyamu abakyasigaddemu basobola okumalibwawo singa obutale okuli Nyendo, Busega n’obulala gye batunda ebyennyanja ebito bulondoolwa n’abasuubuzi ne bakwatibwa.

Laurent Katongole nga yaakamala emyaka 35 ku mwalo guno yategeezezza nti buli lunaku omwalo gufuna wakati wa ttani bbiri ne ssatu n’ekitundu ez’ebyennyanja ebikulu kyokka ebikwekweto bwe byali tebinnatandika kyabeeranga kizibu okufuna ttani emu kubanga obutimba obukyamu bwali bukokose ennyanja ng’ebyennyanja tebikyasobola kukula.

Yayongeddeko nti kati eryato buli lunaku likola ssente ezitakka wansi wa 1,500,000/- ng’emisoso gyonna bwe giba giggyidwaako nnanyini lyato afunako amagoba agatakka wansi wa 700,000/- kyokka nga kibadde kizibu n’okufuna ttani ennamba olunaku ekikwekweto bwe kyali tekinnatandika.

Baasabye Pulezidenti oyongere amagye nnyanja kubanga ebibala by’ebikwekweto batandise okubiraba wabula ne bategeeza nti, bannabyabufuzi bayingirira enteekateeka eno.

Newankubadde ng’abantu bangi abaakosebwa ebikwekweto bino bangi badduka ku mwalo guno, abantu bangi mu kiseera kino batandise okudda. Catherine Nansubuga yategeezezza nti baasooka kwemulugunya naye ebibala babirabye.

“Naffe abaakolanga emirimu emirala twali tetukyafuna ssente kubanga ebyennyanja byali tebikyalabika naye buli bizinesi kati ekola n’abantu batandise okukomawo ku mwalo”, Nansubuga bwe yagambye.

Mu kiseera kino emyalo 14 gyokka egiri mu mateeka okuva ku myalo 21 egyali gikozesebwa ng’ekikwekweto tekinnatandika nga May 25, 2018.