Agudde mu bazigu ne bamusobyako ne bamutta

Agudde mu bazigu ne bamusobyako ne bamutta

 Nabbanja

POLIISI eriko abasajja babiri b’ekutte ku bigambibwa nti baliko kye bamanyi ku nfa y’omuyizi w’e Kyambogo eyattiddwa omulambo gwe ne bagusuula e Makerere.

Barbra Nabbanja 21, abadde asula ne mwannyina Julius Mudduse mu muzigo ogumu e Makerere mu zooni ya Mukubira ye yattiddwa mu bukambwe oluvannyuma lw’abatemu okumusangiriza ng’agenda ku mulimu ku ssaawa 12:00 ez’oku makya. Nabbanja abadde akola mu kkampuni ya ‘Parapet Cleaning Services’ ku luguudo lwa Gaddafi ng’abadde aliko akakubo mw’ayita okutuuka mu yunivasite e Makerere, n’agwa e Wandegeya n’atuuka ku mulimu.

Akakubo Nabbbanja we baamuttidde waliwo ensiko ng’omuntu bw’aba aliko obuzibu bw’atuuseeko kibeera kizibu omulala okumuwulira okuggyako abayizi ku kisulo kya Livingstone n’abayizi abasoma obusawo bw’ebisolo e Makerere.

Olw’okuba ku Lwokubiri Nabbanja teyasobola kutuukako ku mulimu yasalawo akeere ennyo ku Lwokusatu asobole okukola ku mpapula ze ezaabadde zimukkiriza okulekulira omulimu asobole okufuna obudde obweteekateekera emisomo gye gy’abadde agenda okutandika ku ntandikwa y’omwezi ogujja e Kyambogo. Wabula mu kkubo ku ssaawa 12:00, ez’oku makya, yagudde ku gasajja agaamusobezzaako ne bamala ate ne bamutta.