Ssente abazirakisa ze bansondedde nziguzeemu ennyumba ya bamulekwa ba Kirumira'

KITAAWE w’omugenzi Muhammed Kirumira 'Mwoyo Gwa Ggwanga' agulidde bazzukulu be 24, mutabani we be yazaala mu bakyala abenjawulo ennyumba mw'anaabakuliza mu ssente abazirakisa ze bazze bamusondera okuva lwe yeekuba omulanga.

 Kawooya, kitaawe w'omugenzi Kirumira ng'alaga amaka ge yagulidde abazzukulu

Abubaker Kawooya Mulaalo, agamba nti talina ngeri yonna gy'asobola kwebazamu Bannayuganda naddala mikwano gya mutabani we,  abayimiriddewo naye mu kiseera ekizibu kino ne badduukirira omulanga gwe yakuba ne kaweefube okutegekera bazzukulu be (abaana b'omugenzi Kirumira).

“Ssejjusa nti mutabani wange oba yakola bubi okuzaala abaana abangi ate n'abandekeera, nedda. Nze mpulira essanyu kubanga abaana bano musaayi gwange era nnina okukola nga bwe nsobola okubategekeera,” Bw'atyo Kawooya bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti;

"Ng’oggyeeko ekyo, bazzukulu bange bonna nnina okubategekeera ng’ogasseeko n’abo abana abakulu be mbadde mmanyi era njagala basigale nga bali mu masomero amalungi kitaabwe mw'abadde abaweererera".

Muzeeyi Kawooya yagambye nti ensonga lwaki  yaguze ennyumba eno mu kyalo okumpi n'amaka ge e Mpambire yayagadde ekifo w'anaasobola ng’okulambula  bazzukulu be buli kiseera kubanga bano abooluvannyuma abasinga bali wakati w’e myaka 2 n’emyezi omukaaga. Ng’ate asuubira n'abakyali mu mbuto za bannyaabwe.

Yasabye omukyala yenna alina omwana wa mutabani we nga tasobola kumulabirira oba nga talina w'abeera aggye ayingire mu nnyumba eno n'agamba nti ya bakyala n’abaana bonna Kirumira b'azaala, tesosola yadde okuboola.

Kawooya agamba nti enju yagiguze nga teri mu mbeera nnungi olw’obufunda bw’e nsawo alina okugirongoosa wabula ebikozesebwa nga seminti ne kalonda omulala okugirongoosa tebalina n'asaba alina ky'alina abadduukirire kuba bakyetaaga obukadde nga 30.

Yeebazizza abantu bonna naddala ab’e Bulenga, Nansana, Mutundwe n’ebitundu ebirala abamulaze omukwano ne bamudduukirira okusobola okutuuka wano.

Olumbe lwa Kirumira lwabizibwa mu October  

Olumbe lwa Kirumira lwakwabizibwa nga October, 21, 2018 ne dduwa lw'ejja okusomwa mu maka ga kitaawe e Mpambire.

Kawooya yagambye nti talina mwana yenna gw'aggya kutwala ku DNA kubanga buli gwe baleeta tolina gw’osobola kubuusabuusa.

Yagambye nti bw'amaliriza enju eno agenda kutandiika kuzimba mizigo omunaava fiizi wa bamulekwa ku ttaka ly'omugenzi Kirumira e Bulenga.