Kkooti eyise owapoliisi eyalagajjalidde omulimu

KKOOTI e Lugazi eyise akulira poliisi y’e Ngogwe ne mune ku by’okulagajjalira emirimu gyabwe ekyavuddeko ababbi okubba ebyuma ebyassibwa ku luguudo lw’e Mukono olukyakolebwa.

Abavunaanibwa okubba ebyuma nga basibiddwa empingu bava mu kkooti.

Rita Businge, akulira poliisi y’e Ngogwe yayitiddwa kkooti ne munne Robert Chedikol akolera ku poliisi e Nkokonjeru.

Omulamuzi Aisha Nabukeera ow’e Lugazi yayisizza ekibaluwa kibankutumye ekiyita abapoliisi oluvannyuma lw’abantu abaakwatibwa ku bubbi buno okuleetebwa mu kkooti kyokka ng’aba poliisi abo tebaliiko ng’ate ku lukalala lw’abavunaanibwa amannya gaabwe gaabaddeko.

Abaalabise mu kkooti baasindikiddwa mu kkomera e Lugazi era baakuddamu okuleetebwa mu kkooti nga October 26.

Abaalabise mu kkooti kuliko; Stephen Sekibuule ddereeva wa mmotoka UBA 476C ekika kya Canter agambibwa nti ye yatisse ebyuma ebyasumuluddwa ku luguudo.

Ebimu ku byuma ebiri ku kkubo ebibbibwa.

 

Abalala ye Alex Oluma akola obwa askari mu kifo ky’abasisita ba St. Francis Nkokonjeru mmotoka gye yabadde ekwekeddwa, Deo Nyombi omutuuze w’e Nkokonjeru ebyuma we byasooka okuterekebwa, Zebidayo Kihaya ne George Kihaya abakozi ba kkampuni ekola enguudo eya RCC/SBI Ye omuserikale Robert Chedikol avunaanibwa omusango gw’okukuutiza ekitabo omuwandiikibwa mmotoka mu paakingi ya St. Francis nga agenderera okubuzaabuza obujulizi.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Hellen Butoto akakasizza nga kkooti bwe yeetaaga abaserikale abo.

Emisango egibagguddwaako kuliko; okulagajjalira emirimu, okukuutiiza ebiwandiiko, obubbi n’okuyamba abateeberezebwa okumenya amateeka.

Bino byonna biddiridde obubbi bw’ebyuma by’oluguudo ebissibwako okutangira mmotoka okugwa mu biwonko oba entobazzi ku kyalo Bbuga mu muluka gw’e Ndolwa mu Ggombolola y’e Ngogwe mu disitulikiti y’e Buikwe.

Ekitundu kino awabbiddwa ebyuma kiri wakati w’amaduuka g’e Ngogwe n’e Nkokonjeru ku luguudo Mukono –Kisoga – Nkokonjeru -Nyenga Gavumenti lw’ekyakola.