Abaafuna ebintu by'Abayindi e Masaka basattira

Abaafuna ebintu by’Abayindi e Masaka basattira

Abantu abasoba mu 250 abaafuna ku byobugagga ebyalekebwa Abayindi mu kibuga Masaka bwe baafuumulwa Idi Amin bali mu kusattira olw’akakiiko akaateekebwawo Gavumenti okunoonyereza ku bantu abeekomya eby’obugagga mu bukyamu okutandika emirimu gyako.

Abakungu ku kakiiko kano akakulemberwa Dr. Abdul Byakatonda baasoose kusisinkana abakulembeze b’ekibuga n’aba disitulikiti y’e Masaka n’abantu abali mu bizimbe bino.

Abamu tebaagenzeeyo olw’okutya ebyabadde biyinza okuddirira ng’ensisinkano yabadde ku kitebe kya Munisipaali y’e Masaka. George William Bizibu, Ssaabawandiisi w’akakiiko kano yategeezezza nti ebintu bingi ebyatwalibwa mu bukyamu ng’abaabigula tebasoose kumanya bwannannyini obutuufu.

N’agamba nti embeera eno y’evuddemu ettaka erimu okubeera n’ebyapa ebisukka mu kimu ng’abaagula abamu baabawa bicupuli. Yanenyezza abakakiiko ka disitulikiti y’e Masaka ak’ettaka n’enkiiko z’ekibuga ezaaliwo okutunda ebyobugagga bino naddala mu kifo ekimanyiddwa nga Mutuba - Musisi Gardens ng’ate amateeka gakirambika bulungi nti minisita w’ebyensimbi y’alina obuyinza okulangirira okutundibwa kw’ebyobugagga byonna ebiri wansi w’akakiiko kano.

Ebyapa ebisoba mu 40 ebyagabibwa mu ngeri eno n’ebirala bakayungirizi b’ettaka bye baali baagala okutunda akakiiko kaabitaddeko envumbo okutuusa ng’okunoonyereza kuwedde.

Bataddewo akakiiko k’abantu 13 nga kakulemberwa RDC wa Masaka, Herman Ssentongo ng’amyukibwa ssentebe wa disitulikiti y’e Masaka Jude Mbabaali ne Meeya w’ekibuga Godfrey Kayemba Afaayo okuyamba ku kakiiko ku nsonga ezimu.