Bateeze omukozi wa yunivasite ne bamutema ebiso ne bamutta

ABAZIGU bateeze omukozi wa yunivasite e Nkozi ne bamutema ebiso omulambo ne bagusuula mu mwala.

 Abamu ku booluganda lwa Byakatonda nga baazirana.

Dominiko Byakatonda 55, omukozi wa yunivasite y'e Nkozi mu Mpigi yattiddwa abazigu abatannategeerekeka bwe baamuteeze ng'anaatera okutuuka ku kkubo erikyama ewuwe ne bamutema ebiso ku mutwe oluvannyuma omulambo ne bagusuula mu mwala okumpi ne poliisi y'e Nkozi.

Abantu abaabadde bayitawo ku makya be baalabye ekitaba ky'omusaayi we baamuttidde mu kkubo.

Baagenze okulaba nga baamukuludde ne bamusuula mu mwala gw'amazzi.

Baayita poliisi y'e Nkozi n'eggyawo omulambo ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Gombe okwekebejjebwa.

Abatuuze baategeezezza nti abaamusse tewaliiwo kye baamuggyeeko ku bintu bye yabadde nabyo mu nsawo ekiraga nti bandiba nga baabadde bajjiridde kusanyaawo bulamu bwe.

Wabaddewo abagamba nti gye buvuddeko omugenzi Byakatonda alina ababbi b'ente be yalonkooma era ne bamwewerera nga bano bateeberezebwa okuba nga be baamukozeeko ettemu lino.

Ssentebe w'ekitundu kino Denis Ssebuufu ategeezezza nti omutuuze we abadde mu nnadiini era nga y'ayimbisa mu Klezia e Nkozi era nti tabadde na mutawaana na mutuuze yenna ku kitundu.

Wabula nabo bakyasobeddwa eyamukozeeko ettemu lino. Yayongeddeko nti omugenzi baasoose kumutema biso mu mugongo olwo n'agwa wansi ne bamutema ebirala ku mutwe n'okumukuba akayondo ku liiso ne lyatika.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango mu Mpigi, Andrew Ainembabazi ategeezezza nti poliisi ebakanye n'omuyiggo gw'abatemu bano kyokka n'asaba abantu okukomya okutambula ekiro naddala mu