Abeekalakaasi e Sudan bongedde okuloza ku bukambwe bwa Bashir: Abakubyemu amasasi

ABEEKALAKAASA e Sudan bongedde okuloza ku bukambwe bwa Pulezidenti Omar Al-Bashir bw’alagidde poliisi n’ebawandagazaamu amasasi ne ttiyaggaasi bangi ne basigala nga banyiga biwundu.

 Ab asudan nga beekalaakasa, wano nga babayiyeemu ttiyaggaasi.

Abeekalakaasi abeegattira mu kibiina kya ‘ Association Of Sudanese Professionals' baabadde basaze amagezi ku Mmande akawungeezi okugenda bagumbe ku maka ga Pulezidenti agali mu kibuga Khartoum bamuwalirize okuva mu buyinza mu mirembe.

Mu ntegeka yaabwe, baabadde balina kumulinda atandike okwogera eri eggwanga nga bajaguza emyaka 63 bukya Sudan efuna obwetwaze. Wabula Bashir yabatebuse n'asimba mangu emizinga ku kkubo erigenda ku maka g'Obwapulezidenti, n'ayiwa abaserikale ku nguudo ne mu bibangirizi eby'enjawulo mu kibuga Khartoum.

Wabula abeekalakaasa nabo bwe baalabye abaserikale abo bonna, bakkaanyizza kukunga bantu kwongera kukuhhaanira ku Qandil Square mu Khartoum wakati.

Bashir olwatandise okwogera nabo ne batandika okukumba nga boolekera amaka ga Pulezidenti nga bwe bayimba ennyimba ezibanja eddembe, emirembe n'obwenkanya.

Baayongeddeko nti enkyukakyuka ez'omuggundu kwe kusalawo kw'abantu kati.

Nga bayomba bino byonna, kuno baawer- B annansi ba Sudan nga beekalakaasa.

Mu katono ye Bashir. eekerezzaako ebigambo ebibanja Bashir okulekulira nti emyaka 29 gy'abafuze gimala. Poliisi yasaanuuse ng'enjuki enkubemu ejjinja ne batandika okukuba ttiyaggaasi mu bantu abaabadde beekalakaasa n'okubawandagazaamu amasasi.

Sara Abdelgalil, Pulezidenti w'ekibiina ekigatta abasawo ekya Sudanese Doctors' Union, agamba nti abantu bana baalumiziddwa ng'okuwona emagombe bajja kusimbayo kitooke.

Omu baamwasizza omutwe, omulala essasi lyamuyise mu kisambi, omulala essasi lya muyuzizza omumiro owookuna akakebe ka ttiyaggaasi kaamwabikidde ku nsingo ne kagisala.

Abaafunye ebisago ebitonotono abo tobala wabula buli eyafunyenga waayita nga yeetegula ekibabu.

Poliisi n'amagye okutuuka okukola obukambwe buno ku bantu, kyaddiridde Bushir okutuuza olukuŋŋana lw'abaamawulire ku Ssande n'abawa ekiragiro okukuba ku nnyama. Bannamateeka bangi baakuŋŋaanidde ku kkooti e Khartoum ne mu kibuga Wad Madani ekiddirira mu bunene.

Bangi poliisi yabakutte n'ebabaggalira. Ekitabudde Sudan kivudde ku miwendo gy'ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo egy'ekanamye.

Ebirinnye ebbeeyi kuliko amafuta, ehhano n'ebintu ebirala. Okwekalakaasa kwatandika December 19, 2018 nga kati kuli mu wiiki eyokubiri.

Aboobuyinza baggadde amasomero mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo ne balangirira essaawa eyakazigizigi.

Abantu abaakafiira mu kwekalakaasa omuwendo omutuufu gubuusibwabuusibwa newankubadde nga Gavumenti egamba nti abaakafa okuli abantu baabulijjo n'abaserikale bali 19 kyokka ekitongole kya Amnesty International kigamba nti abafudde bali 37.

Ssaabawandiisi w'ekibiina ky'amawanga amagatte Antonio Guterres, asabye wabeerewo obukkakkamu.

Abalala abakulira oludda oluvuganya Gavumenti ya Bashir n'aduumira abayeekera b'e Durfar Abdel Wahid al-Nur bakunze ababawagira beegatte ku kwe