Abeekalakaasa e Sudan balaalise abawagira Bashir

MMANDE ABEEKALAKAASA e Sudan baweze okufaafaagana n’abawagizi ba pulezidenti Omar al-Bashir enkya, ke bageza ne bagenda mu lukuhhaana lw’ategese mu kibuga Khartoum wakati.

Khartoum, Sudan,

Oluvannyuma lw'okugoba Genero, akutte n'aggalira bapulofeesa babiri okuva mu Khartoum University n'abasomesa abalala 8 abaabadde beegasse mu kwekalakaasa okuwakanya gavumenti ya Bashir.

Okwekalakaasa okwabadde kumenya n'emiti kwabaddewo ku Ssande mu kibuga Khartoum n'okwetooloola ebibuga ebirala byonna mu ggwanga.

Bano baatandise okukumba nga bayimba okwolekera amaka g'obwapulezidenti.

Poliisi n'amagye baabaanukuzizza ttiya ggaasi ne babuna emiwabo, amawulire olwatuuse mu matu g'abayizi n'abasomesa basitukiramu nabo okweyiwa ku nguudo kyokka abeebyokwerinda tebaabaganyizza kufuluma ggeeti ya yunivasite ne babakwata n'abaabadde bakyegugungira munda mu yunivasite ne baggala emiryango.

Guno gwe gwabadde omulundi ogusooka abayivu bano okwenyigira mu kwekalakaasa okuva lwe kwatandika mu December omwaka oguwedde.

Bashir asazeewo abeekalakaasa abaanukule n'okukuba olukuhhaana lw'ebyobufuzi ku Green Yard, wakati mu Khartoum.

Olukuhhaana lutegekeddwa akulira Liberation and Justice Party, Bahr Idris Abu Garda.

Abeekalakaasi bawera nti Bashir ne bw'anaakola atya bajja kumulindirira nabo beekalakaasize ku kifo w'agenda okukuhhaanira.

Ekivuddeko embeera okutabuka gye miwendo gy'emmere okweyongera ng'akagaati akasookerwako ebbeeyi yaako erinnye n'ekubisaamu emirundi esatu, emiwendo gy'amafuta nagyo gyekanamye.

Wano abawakanya Bashir we basinziira okwekalakaasa nga baagala alekulire ekifo kya pulezidenti oluvannyuma lw'okufuga Sudan okuva 1989.

Ekirala ekitanula abantu okwekalakaasa, ku basomesa ba yunivasite munaana ne bapulofeesa Bashir be yaggalide, yagasseeko abantu babulijjo 200 be baggalira, ate abalala ne babakubamu ttiyaggaasi.

Gavumenti egamba nti okuva abantu lwe baatandika okwekalakaasa abaakafiiramu bali 19 kyokka ebitongole ebirala nga Amnesty International byategeezezza nti abaakafa bali 37.

Abeekalakaasa bakumba bayimba nti baagala mirembe.