Omwana w'omugagga wa Steel and Tube afudde mu ntiisa

Omwana w'omugagga wa Steel and Tube afudde mu ntiisa

 Namulindwa lwe yagattibwa ne bba Twahiirwa.

MUWALA w'omugagga Joseph Yiga owa Steel And Tube, yawulidde akamusiiwa mu mumiro n'akolola.

Mu kaseera katono, omukka yabadde abaka mubake. Baamutadde mangu mu mmotoka okumutwala mu ddwaaliro, kyokka baavuzeeko akabanga katono n'afa. Juscent Namulindwa Yiga 38, abadde abeera Namugongo ne bba Joseph Twahiirwa gw'alinamu abaana basatu.

Abadde akola ne kitaawe ne nnyina mu kkampuni ya Steel and Tube Industries eriraanye ekkolero lya sooda wa Pepsi Cola e Kyambogo ku lw'e Jinja. Ku Ssande, Namulindwa bwe yamaze okulya ekyemisana n'abaana be n'atuula mu ddiiro ly'abagenyi. Bba teyabadde waka. Ku ssaawa nga 11 ez'olw'eggulo yatandise okukolola.

Omukozi w'awaka yasembedde n'amubuuza nti "mmami obadde ki?" N'amuddamu nti "nsoose kuwulira akantu akansiiwa mu mumiro, era okukolola we kutandikidde". Omukozi yayise ab'oku muliraano ne bamussa mu mmotoka ne bamutwala mu kalwaliro akaliraanyewo.

Abasawo baamukozeeko kyokka embeera n'eyongera kuba bubi. Baabawadde amagezi bamwongereyo mu ddwaaliro eddene. Mw. Yiga eyasangiddwa mu maka ge e Munyonyo eggulo, yategeezezza Bukedde nti yawabudde bamutwale mu ddwaaliro lya ‘Life Link' e Namugongo- Kyaliwajjala, kyokka baabadde baakavugako katono n'abafi irako mu mmotoka. "Tubadde tukola naye ng'omu ku bamaneja.

Simanyangako ng'alina obulwadde bwonna. Kino kitukubye wala", bwe yategeezezza. Yafudde ku ssaawa 5 ez'ekiro kya Ssande. Omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika e Mulago gye gwaggyiddwa okutwalibwa ewa Yiga e Munyonyo awaakumiddwa olumbe.

Leero ku Lwokubiri ku ssaawa 5 ez'enkya, wajja kubaawo mmisa mu Eklezia ku kiggwa ky'abajulizi e Namugongo, n'oluvannyuma omulambo gutwalibwe e Bisanje -Masaka gye gunaasula olwo aziikibwe enkya ku Lwokusatu ku ssaawa 8 ez'emisana.

Bba Joseph Tukahirwe akolera mu kkampuni ya Maina ICD etuusa mmotoka eya Ssentebe wa Kwagalana, Godfrey Kirumira. Eggulo mikwano gya Yiga okuli Kirumira (Yiga naye mmemba wa Kwagalana) baasisinkanye ewa Yiga okuteesa ku nteekateeka z'okuziika