Omusamize agamba okuyamba Kadaga n'afuna ettutumu amututte mu kkooti

Omusamize agamba okuyamba Kadaga n'afuna ettutumu amututte mu kkooti

 Rebecca Alitwala kadaga

OMUSAMIZE atutte Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga mu Kkooti ng'alumiriza nga bwe yamuwa eddagala ly'emikisa erimuyambye okufuuka ow'amaanyi mu byobufuzi kyokka n'atamusasula nga bwe bakkiriziganya.

Ayagala amusasule obukadde 200 olw'okumenya endagaano gye baakola oluvannyuma lw'okumusuubiza okumukolera ebintu eby'enjawulo byonna ne bituukirira. Omusango guno omusamize yaguloopye mu kkooti e Jinja kyokka nga tennawa lunaku lw'egenda kutandika kuguwulira.

OMUSAMIZE ANNYONNYOLA: Nze Damiano Akuze nga ndi musawo wa kinnansi. Essabo lyange lisangibwa ku kyalo Buwala mu Buganda Zooni, mu muluka gw'e Lulyambuzi mu disitulikiti y'e Kamuli.Nga January 28, 1990, nnali ndi mu ssabo lyange, omukulu Kadaga n'antuukirira mbeeko bye mmukolera.

Ekikulu kye yansaba, kwali kumukolako afuuke ow'amaanyi mu byobufuzi bwa Uganda era aganje ekiseera kyonna ky'anaamala mu byobufuzi. Nawuliriza ensonga ze era bwe nazeetegereza nnawulira nga nzisobola okuzikolako. Wano we natandikira emirimu gyange era gyebyakkira, nga Kadaga bye yasaba bituukiridde era nkakasa nti abamulaba tebayinza kuwakanya bye njogera olwa kiki ky'ali mu ggwanga mu kiseera kino. Ng'eggyeeko ensimbi ze yansuubiza, Kadaka era yansuubiza okunfunira omulimu ogwamaanyi mu Gavumenti mbeere nga nvugibwa buvugibwa n'okukuumibwa ng'omukungu.

Mu kiseera kino Kadaga teyalina nsimbi zinsasula kyokka yankakasa nti waazifunira naddala ng'amaze okufuna bye yali asabye yali agenda kunsanyusa nange nsiime. Eddagala lye nakolera Kadaga lyakolerawo n'alondebwa ku bubuka bwa Palamenti, n'ayingizibwa Omusamize atutte Kadaga mu kkooti mu Gavumenti nga minisita (ekituufu Kadaga tabangako minisita), eyo gye yava n'alondebwa ku Bwasipiika bwa Palamenti era nga kati nnamba ssatu okuva ku Pulezidenti w'eggwanga.

Eddagala eryasooka nalimukolako mu kiro kya Septembe 2, 1990, omukulu ono yajja mu ssabo lyange ne mmukolako era okumanya nti ebintu byakolerawo, enkeera nga September 3, Pulezidenti Museveni yamuyita n'amuwa obwaminisita, era okuva olwo taddanga mabega ku birungi ebimuyiikira.

Okuviira ddala mu 1990 lwe natandika okumukolako, yansasulayo 1,000,000/- zokka wano jjojjo mu 2017 era nga kati ku bukadde 200 ze yansuubiza yakampaako akakadde kamu kokka. Mu ndagaano gye twakola, Kadaya yali ateekeddwa okunzimbira ennyumba ya bukadde 100, okungulira mmotoka eya ttipa ya bukadde 60, poloti ya bukadde 40, ente nnya, n'ebintu ebirala nga bino byonna byali byakuggweera mu bukadde 205.

Kyokka kinneewuunyisa okulaba nga Kadaga yagaana okubaako ky'atuukiriza ku bino byonna bye twakkanyaako mu bulungi ate nga nzize mmukolera era ng'amatira bye nkola.

Nsazeewo okugenda mu kkooti ne ndoopa omusango okufuna obwenkanya. Okuwoza bwe kunaaba kutuuse, nja kuleeta obujulizoi bwe bintu byonna bye njogeddeko nga bwe twabikkanyaako olwo omulamuzi asalewo ku nsonga zino." Gye buvuddeko, Sipiika Kadaga yagenda n'alambula ekiggwa ekiyitibwa Nendha ekisangibwa e Kigo mu disitulikiti y'e Iganga n'afuuyibwa ku mpewo zaayo.