Abavubuka mukomye effujjo bwe muba mwagala okugenda mu maaso- Omubaka Zaake

OMUBAKA wa Mityana North, Francis Zaake agambye abatuuze b’e Lwengo nti ekisinde kya ‘People Power’ kimaliridde okugoba abavubuka abakola effujjo abavuddeko emivuyo gy’okwekalakaasa kibayambeko okuwangula akalulu mu mirembe.

 Zaake ng’ayogera eri Bannalwengo. Ku ddyo sipiika wa Buganda Youth Council, Allan Ssebunnya ne Kizza.

 "Tetugenda kuwangula kifo kyonna singa abavubuka tetweddako mu ntalo ze tuwakula era mwerabidde nti abantu be mukoleramu effujjo ate bakugu n'okubasinga kuba buli kimu eky'okulwanyisa n'obukodyo bakirina. N'olwekyo tumaliridde okugoba buli aneenyigira mu mivuyo kuba tewali bukulembeze bunyuma ng'okuwangula akalulu mu mirembe," omubaka Zaake bwe yategeezezza.

Okwogera bino yasinzidde mu kuggalawo empaka z'emipiira egy'abawala n'abalenzi egyategekeddwa Hakim Kizza nga gino gyabadde ku kisaawe kya Bbaale Stadium mu kabuga k'e Kinoni ng'omupiira ogw'abalenzi gwaggweeredde mu bikonde bwatyo Kizza n'ayimiriza omupiira guno okutuusa ku Lwokusatu lwa wiiki eno.

Zaake yasabye abakulembeze okusakira ebitundu byabwe n'okubiteeseza omuli n'okutumbula ebitone by'abavubuka baleme okubagawo amateeka aganyigiriza eddembe ly'omuntu nga bweguli ku minisita Kiwanda ayagala okutumbula ebitone by'obubina bw'abakyala mu ggwanga ekintu eky'obuswavu.

Sipiika wa Buganda Youth Council, Allan Mayanja Ssebunnya yasabye abavubuka okukomya okulowooleza mu byobufuzi nti bagenze kufuna mirimu n'abalabula okugenda mu byobufuzi n'ekigendererwa ky'okuweereza abantu.

Mayanja naye yalabudde abavubuka okukomya effujjo eribaviiriddeko obulemu n'amaka gaabwe okusasika n'abasaba okukikomya basobole okweyagalira mu buvubuka bwabwe.

Abalala abaabaddewo ku mpaka zino kwabaddeko Francis Kizito owa Lubaga North, Batemyetto n'abalala.