Ensonga z'ebbanja lya Bryan White zikutte enkandaggo

Ensonga z'ebbanja lya Bryan White zikutte enkandaggo

 Omugagga Bryan White

Bya Annet Nalugwa

KAWEEFUBE w'okununula ssente obukadde 135 okuva ku mugagga Bryan White (Bryan Kirumira) nnannyini Bryan White Foundation bw'agaanyi, amubanja namuwawaabira mu kkooti asobole okununula ssente ze.

Endooliito zino zatandika gye buvuddeko, Ephraim Kirumira Majjanja nnannyini kkampuni ekola weema eya Majjanja & Sons e Kireka era nga mutuuze mu kifo kino okulumiriza Bryan White okugaana okumusasula obukadde 135 era yali tannamuwa tenti namutiisatiisa okumukuba amasasi. 

Majjanja alabye embeera egaanyi ekiwejjowejjo ng'ali mu kkooti enkulu etawulula enkayana z'ebyobusuubuzi mu Kampala ng'ayita mu kkampuni ye eya Majjanja & sons company Ltd ng'omusango guli ku fayiro nnamba CS 137/19. Nawawaabira Bryan Kirumira amanyiddwa nga Bryan White, badayirekita mu kkampuni ye eya Bryan White Foundation ne Nicholas Muwanguzi owa Wald electronicis.

Ebiwandiiko bya kkooti byalaze nti mu October wa 2018,  Muwanguzi yatuukirira Majjanja ku lwa Bryan White ne kkampuni ye eya Bryan White Foundation namusomera ddiru nti abakolere weema eziwera ku 270,000,000 Majjanja n'abuguma.

Nga October 13 2018 Bryan White ne kkampuni ye eya Bryan White Foundation ng'abayita mu agenti waabwe Muwanguzi basasula obukadde 135 era ne basuubiza okusasula ezaasigalayo obukadde 135 ne batandika okukola era mu nnaku ntono baali bamaze.

Nga October 24 2018 Majjanja yabawa weema zino era nga Muwanguzi ye yazinona nga tebannassa mukono ku kiwandiiko ekiraga nti bazifunye Bryan White ne Muwanguzi bazirambula ne bazekkennenya.

Era bwe bamala okuzirambula Bryan White ne Muwanguzi baategezza Majjanja nti ssente ezaasigalayo baakuzisasula mu wiiki emu yokka kyokka nakati bakyagaanyi okusasula ssente zino newakubadde babanjiza obwoya ne bubula okubaggwa ku ntumbwe.

Akikkaatiriza nti nga February 5 2019 Majjanja ng'ali ne banne bagenda mu kyalo e Busunju Kikandwa Mityana nga bagenze kubanja ssente kyokka babasiba busibi ku poliisi y'e Busunju oluvannyuma ne batwalibwa ku poliisi e Mityana gye babaggulirako omusango omusango gw'okukozesa olukujukuju ne bamuggyako ssente oluvannyuma gye babateera ku kakalu ka poliisi.

Nga Bryan White yekwasa nti omutindo gwa weema gwali mubi nnyo nti yaziteeka mu musana ennaku bbiri ne zitandika okuggyamu ebituli wabula fayiro bwe yatwalibwa ew'omuwaabi wa gavumenti okubawabula wabula nalagira bagiggale kuba omusango guggwa mu nsonga za ngassi. Omusango guno gwaweereddwa omuamuzi Anna Mugenyi yanaaguwulira