Abatembeeyi bagumbye ku KCCA ne ssanduuke nga babanja omuntu waabwe.

Abatembeeyi bagumbye ku kitebe kya KCCA ne ssanduuke y'abafu okusobola okwemulugunya ku muntu waabwe eyakubibwa era n'atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago ngali mu mbeera mbi ddala.

 Abatembeeyi nga batwala ssanduuke n'abaserikale nga babalemesa okugitwala.

POLIISI ekutte abatembeeyi ababadde n'abavubuka ba Jobless brotherhood nga bagenda ku Cityhall okwekalakaasa olw'omuntu waabwe gwe baawamba nga kati gugenda kuwera mwezi nga talabikako.
 
Bano ababadde  bakulembeddwaamu Habiib Buwembo nga beetisse ssanduuke nga bwe bagenda bayita mu kibuga nga bakuba emiranga ng'abasirikale ba KCCA bwe basusse okubatta nga kati baagala babawe omulambo gwa munnaabwe Juma Akankwasa bamweziikire okusinga okubulwako amalaalo.
 
Wabula baabadde batuuse ku kizimbe kya Min Price mu Kampala Poliisi nebazingako era okukkakkana nga Habiib Buwembo ne banne basatu bakwatiddwa ne batwalibwa ku poliisi ya CPS mu Kampala.
 
Kino kiddiridde baserikale ba KCCA okukwata omutembeeyi Juma Akankwasa eyasangibwa  mu paaka enkadde nakubibwa bubi.Kigambibwa nti abaserikale bwe baamutuusa ku CPS  baalaba nga ali bubi ne bamuddusa mu ddwaaliro e Mulago.
 
Abengandaze we baagenda okuwonderako  ne basanga essaati  gye yalimu ng'ejjude omusaayi ng'eri ku ggwanika ly'e Mulago ekirowoozebwa nti yafa kyokka KCCA netabawa mulambo gwabwe.