Abantu 5 mu famire emu baafiiridde mu nnyonyi

Abantu 5 mu famire emu baafiiridde mu nnyonyi

 Abafamire ya Alalo nga bali mu maka ge e Seeta.

Musajjamukulu John Quindos Karanja 61, g'akaaba g'akomba oluvannyuma lw'okufiirwa abantu be bataano ku nnyonyi eno.

Karanja enzaalwa y'oku kyalo, Kwa Amos, mu ggombolola y'e Kabatini- Bahati, mu ssaza ly'e Nakuru yafiiriddwa abantu bataano okuli: mukyala we Ann Wangui Quindos Karanja, muwala we Caroline, n'abazzukulu basatu Ryan Njoroge, 7, Kelly Paul, 5 ne Ruby Paul ow'emyezi omwenda gyokka.

Ku Ssande, Karanja yakedde okuva Nakuru n'agenda ku Jomo Kenyatta International Airport okwaniriza famire ye, ennyonyi yabadde yakutuuka ku ssaawa 4:45 ez'oku makya. Obudde bwe bwatuuse nga buli lw'alaba ennyonyi ekka alowooza nti mwemuli mukyala we n'abazzukulu.

Mukyala we, Wangui abadde amaze omwaka mulamba ng'ali Canada ajjanjaba muwala we Caroline Karanja eyazaala omwaka oguwedde. Baasitudde okudda eka e Kenya basange famire yaabwe