Gavt. eremedde ku muka Kasiwukira

Gavt. eremedde ku muka Kasiwukira

 Nabikolo

OMUWAABI wa Gavumenti omukulu alemedde ku mukyala w'omugenzi Kasiwukira, Sarah Nabikolo nti wadde nga yejjeerezebwa ogw'okutta bba obujulizi obutabuusibwa maaso obulaga nti ye yapanga obutemu buno bwaliwo era asaana asibwe ne muganda we Sandra Nakkungu eyakaligibwa emyaka 20 olw'okutta Kasiwukira.

Nabikolo yejjeerezebwa omusango gw'okutta bba Eria Ssebunya Bugembe Kasiwukira wabula muganada we Sandra Nakkungu ne muganzi we Jaden Ashiraf eyali owa poliisi e Muyenga ne basibwa emyaka 20 buli omu olw'okutta Kasiwukira. Kasiwukira yatibwa nga October 17, 2014 bwe yali akola dduuyiro.

Emmotoka eyamutomera ey'ekika kya Pajero kyazuulibwa nti yali yamulamu we Nakkungu nga yali evugibwa Jaden. Omuwaabi wa Gavumenti yayise mu looya we Simon Peter Ssemalemba n'agamba nti Nabikolo yennyini bwe yali yeewozaako yagamba nti ku kyalo baamuyitanga ‘madaamu' ng'ate n'abajulizi abamu bategeeza kkooti nti Jaden Ashiraf yabategeeza nti ‘madaamu' ye yayagala okumuttira bba olw'okuba yali aleese ebyawongo ebyali byagala okuta abaana be.

 Yakomezaawo obujulizi bwa Richard Byamukama eyategeeza kkooti nti Jaden yali amuwadde omulimu gw'okutta Kasiwukira era bwe baagenda okusisinkana Nakkungu baba banyumyamu engeri gyebanattamu Kasiwukira, Nakkungu n'amutegeeza nti ‘madaamu' ayagala okumuttira bba olwaakuleeta amayembe ye Nabikolo. Yagambye nti kino kiraga bulungi nti Nabikolo y'alina kyamanyi ku kufa kwa bba era nga ne mu pulaani yalimu.

Yannyonnyodde abalamuzi ku bufumbo bwa Kasiwukira ne Nabikolo okubanga tebwamuli ssanyu oluvannyuma lwa Kasiwukira okuwasa omukyala owookubiri.

Yaleese n'obujulizi bw'owa bodaboda eyategeeza kkooti nKasiwukira yamupangisa okulondoola mukyala we ng'ateebereza Nakkungu okubeera ng'amutwala mu basawo b'ekkinnasi era nti Nabikolo bwe yategeera nti owa bodaboda abadde amulondoola yamulumba ku siteegi n'amuvvuma nga bw'amubuuza ssente mekka Kasiwukira zaamuwa okumulondola.

Ssemalemba yannyonnyodde nti singa obufumbo bw'alimu emirembe Kasiwukira teyandipangisizza muntu alondoola mukyala we wabula obujulii buno obukulu Omulamuzi Masalu Musene yabubuusa amaaso n'amwejjereza omusango. Yayogedde ne kubulimba bwa Nabikolo n'agamba nti yegaanira mu kkooti nti Jaden yali tamulabangako