Museveni ali Kenya ku bugenyi obutongole

PULEZIDENTI Museveni atuuse e Kenya gy’agenda okumala ennaku essatu ku bugenyi obwamuyitiddwaako mukulu munne Uhuru Kenyatta.

Okusinziira ku bubaka Pulezidenti bw'atadde ku mukutu gwe ogwa Twitter, obugenyi buno bugenda kuyamba amawanga gombi okunyweza enkolagana mu byenfuna, ebyobufuzi n'embeera z'abantu.

Museveni yatuukidde mu kibuga Mombasa ekiri ku lubalama lw'eriyanja lya Buyindi.

Museveni yasoose South Afrika gye yamaze ennaku ebbiri mu lukuηηaana olukwata ku nsi emanyiddwa nga Western Sahara eyagala okwekutula ku Morocco mu bukiikakkono bwa Afrika.