Muka Mbuga bamuzzizzaayo e Luzira

MUKA SK Mbuga, Angella Chebet azziddwaayo mu kkomera e Luzira gye yasibibwa ku misango gy’okubba muganzi we Omuzungu ssente ezisoba mu bukadde 400, bw’aleeteddwa ku kkooti kyokka looya we n’atalabikako.

Bambuga ku mukolo gw'embaga yaabwe

Chebet bwe yabuuziddwa oba amanyi ensonga lwaki looya we, Emmanuel Wamimbi talabiseeko mu kkooti yagambye nti naye tamanyi era yeewuunyizza lwaki tazze ng'ate olunaku abadde alumanyi.

Abeηηanda n'emikwano gya Chebet ababadde babaawo buli lw'abadde aleetebwa mu kkooti nabo tebaalabiseeko era mu kkooti yabaddemu bw'omu n'abaserikale b'amakomera.