Madhvani awadde sikaala za bukadde 700

Madhvani awadde sikaala za bukadde 700

EKIBIINA kya ‘' Muljibhai Madhvani Foundation'' kiwaddeyo obukadde 700 okuweerera abayizi abali mu yunivasite nga tebalina busobozi bw'eweerera. Kino kigenda kuyamba okukendeeza ku muwendo gw'abayizi ababadde bawanduka mu yunivasite olw'okubulwa ffiizi.

Ssentebe w'olukiiko olufuzi olw'ekibiina kino, Gerald Ssendaula eyabadde ayogera eri bannamawulire mu Industrial Area mu Kampala yakakasizza nti batongozza sikaala z'omwaka 2019/20 ez'okuweebwa abayizi abatalina busobozi kweweerera ku yunivasite. Guno mulundi gwa 16 ng'ekibiina kiwaayo sikaala zino.

Kyatandikira ku kugaba sikaala za bukadde 200 era ng'ensimbi eziwera obukadde 8,530 ze zaakaweebwayo okusomesa abayizi mu yunivasite bukya kitandika buyambi buno. Abayizi 2,240 be baakaganyulwa mu sikaala zino.

Abayambibwa be basoma diguli esooka n'abo abali ku misomo egisingawo. Obwa yinginiya, ebyobulamu, obulimi ne tekinoligiya ze kkoosi ezisinga okuba ez'ebbeeyi okusomebwa mu yunivasite bw'ogeraageranya n'amasomo agakwata ku mbeera z'abantu.

Omukungu w'ekibiina kino, Beatrice Apoto yagambye nti abayizi abasoma ebyobulimi, ebyobulamu (Biology), eby'okutabula eddagala (Chemistry oba Pharmacy),obwa nnansi (nursing), obwa yinginiya, okutabula emmere, tekinologiya, ssaayansi, eddagala ly'ebisolo, ebyobusuubuzi, okujjanjaba abantu, ebya wooteeri n'ebirala be bagenda okuganyulwa mu sikaala zino.

Abagenda okuganyulwa bateekwa okuba nga baweereddwa ebifo ku yunivasite nga basomyeko omwaka gumu ku kkoosi yaabwe. Ate abasomesa emisomo egisinga ku diguli balina okuba nga baweereddwa ebifo mu yunivasite. Nsalessale w'okusaba wa May 31, 2019