FDC ewakanyizza eby'okwegatta mu kulonda kwa 2021

FDC ewakanyizza eby'okwegatta mu kulonda kwa 2021

FDC ewakanyiza ebya D.P nti bali munteeseganya ku by'okusimbawo omuntu omu ku buli kifo mu kulonda kwa 2021

Banaffe  abalowoleereza mu kwegatta balinga abantu abazimba ennyumba ne batandika okugabana ebisenge n'ebitanda ng'enyumba tenaggwa ffe tulowooza abo baba bakedde nnyo kubanga omulimu omukulu gwakusooka kugiyimirizaawo,obudde we bukusanga osobola okugisulamu nga tennaba kuggwa bwetutyo ffe bwetutunulidde okulonda kwa 2021.

Bino byogeddwa Ibrahim Ssemujju Nganda omwogezi wa FDC mu lukungana lwa bannamawulire olwa buli wiiki ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi .

Ssemujju yagambye nti bwotunuulira abantu abalowoleza mu kwegatta bali mu kweteekeratera ku londa kwa 2021, FDC kyetutalowoza nako nga kaweefube waffe tumutadde kungeri yakulaba nga Museveni tumujja muntebe nga 2021 tannatuuka.

‘'Buli kibiina kyewandisa era nga kirina ne ssemateeka wakyo kwe kitambulira kati bannaffe abagamba twegatte tubagaliza birungi byerere munteekateeka zamwe naye amaanyi gaffe tugatadde mu kulaba nga Museveni taddamu kulabikira ku kakonge ka kulonda.''Ssemujju bwe yategeezezza

Yakulumidde poliisi n'amagye olw'ebikolwa eby'okutyobola eddembe ly'obutu n'okulemeesa nga enkungaana zaabwe nasekerera  abali balowooza nti Kayihura mubi nagamba, ku bigenda mu maaso kati kirabika  Ochola ne Muzeeyi abantu be balinamu  essuubi bakyalemeddwa okukendeeza ku bikolobero mu poliisi.

Ku byokuzaawo ekitongole kye by'enyonyi ekya Uganda National Airlineds Ltd yagambye nti buno bubbi bwenyinyi kubanga ebiriwo biraga nti abantu abolubatu baamala dda okutegeeka engeri gyebagenda okufuna mu kitongole kino yadde nga kyagwanga lyonna.