Tufeeyo okwezza obuggya mu kisiibo

Tufeeyo okwezza obuggya mu kisiibo

ABAGOBEREZI ba Kristo bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo okwezza obuggya mu mwoyo n'emmeeme nga balaga empisa ennungi eziweesa Katonda ekitiibwa.

Bwannamukulu w'ekigo ky'Abasodookisi ekya St Nicholas e Namungoona Rev. Fr. Nicholas Bayego yagambye nti ekisiibo abantu basaanye okukikozesa okwekebera okusobola okukuuma emmeeme n'emyoyo gyabwe nga giri wamu okusobola okwewala ebibi mu mbeera Katonda mw'abaagala.

Faaza Bayego yagambye nti mu lubereberye omuntu yagwa, Katonda bwe yalagira Adam ne Eva obutalya kibala okuva ku muti ogwali wakati mu nnimiro. Kuno kwali kubagezesa oba basobola okusiiba wabula baakemebwa ne bakirya ekyabaleetera okugwa.

Yagambye nti omuntu asaanye okweyisa mu ngeri emuleetera okwewala ebibi mu kisiibo wabula bajjukire nti mu kisiibo balye omuti ogw'obulamu, Yesu Kristo so ssi kibala Adam ne Eva kye baalya ne boonoona nga kino bakikola nga bakuuma empisa ennungi.