Uganda egenda kuddamu okusima Copper e Kirembe

GAVUMENTI etukkizza eby’okusima kkopa e Kilembe mu disitulikiti y’e Kasese mu kawefube w’okwongera okutumbula eby’enfuna n’okufunira abantu emirimu.

Mu ntegeka z'erina, gavumenti esuubira okukolagana ne banneekolera gyange okusitula eby'okusima kkopa n'eky'obuggagga ekirala ekya  ‘kaboloti (cobalt)' okuva mu kirombe e Kirembe ekisangibwa mu disitulikiti y'e Kasese mu bugwankuba bwa Uganda.

Olukiiko lwa baminisita olwatudde ku Mmande era lwasazeewo bino. Era ne lusalawo okwongera okuyigga eby'obuggagga by'omu ttaka ebirala ebiyinza okuba mu kirombe kino.

Baminisita bakkirizza gavumenti okufuna omugagga okussa ensimbi mu kirombe kino eggwanga lisobole okufunamu omugaso.

Olukiiko lwakkirizza entegeka za gavumenti ez'okuzimbira abanoonyi b'obubudamu 1,780 enju e Kyangwali mu bugwanjuba bwa Uganda.

Era lwakakasizza nti olunaku lw'abakozi lwakukuzibwa e  Patongo  Akwee  Primary School  playground  mu disitulikiti y'e  Agago.