Abadiventi beebazizza Kabaka okulwanyisa sikoseero ne fisitula

Omulabirizi wa Central Uganda Conference, Samuel Kajoba ye yakulembeddemu okusabira Kabaka era n’amwebaza olw’okuvaayo n’amaanyi okulwanyisa endwadde omuli nalubiri ne fisitula.

 Omulabirizi Kajoba bwe yabadde abuulirira abaawule ne bakyala baabwe.

Bya LAWRENCE KITATTA

AB'EKKANISA y'Abadiventi beegasse ku Buganda okusabira Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II n'okumukulisa okutuuka ku mazaalibwa ag'emyaka 64.

Omukolo gw'okusabira Kabaka gwabadde ku kkanisa yaabwe e Kireka ku Lwomukaaga era nga bayawuliddeko n'abasumba mukaaga.

Omulabirizi wa Central Uganda Conference, Samuel Kajoba ye yakulembeddemu okusabira Kabaka era n'amwebaza olw'okuvaayo n'amaanyi okulwanyisa endwadde omuli nalubiri ne Fisitula.

Ono era yeebazizza Kabaka olw'okuwaayo ettaka okuzimbiddwa amalwaliro ag'enjawulo. Mu bubaka Katikkiro bwe yatisse Minisita avunaanyizibwa ku Mbiri z'Obwakabaka, Godgrey Kiwalabye Male yagambye nti mu kiseera kino Obuganda bwegasse wamu okwebaza Katonda olw'obulamu bw'awadde Ssaabasajja Kabaka ng'ajaguza amazaalibwa ge eg'emyaka 64.

Yagambye nti Omwaka guno omulamwa gutunuulidde omwana akuziddwa obulungi nga mulamu ate nga yeesiga Katonda. Ssaabalabirizi w'ekkanisa y'Abadiventi, Daniel Matte yakuutidde abasumba abaayawuliddwa okukola emirimu gya Kristo  nga tegiriimu bukungu n'okwegulumiza.