BUKEDDE W'OLWOMUKAAGA YAFULUMYE DDA NG'ALIMU EBIKULU BINO

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Poliisi ekutte omusawo ku bya Dokita omukazi eyabuziddwaawo.

Mulimu ebyabaddewo mu kutambuza ekkubo ly'omusaalaba ne bannaddiini bye baayogedde nga bata akaka.

Mu Akeezimbira: Tosubwa engeri gy'osobola okutegeera abafere b'ettaka n'obukodyo bw'okubalwanyisa. Byonna mu Bukedde w'Olwomukaaga.

Mu Byemizannyo: Tukukubidde ttooci mu nsiitaayo ya Man City  ne Spurs omutendesi Pep Guardiola mw'alaalikidde munne Pochettino okumukuba awabi.