Batemye omuvubuka ejjambiya ne bamutta

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b’e Kitemamasanga mu Ggombolola y’e Makulubita-Luweero bwe bagudde ku mulambo gw’omuvubuka ng’attiddwa mu bukambwe.

 Abatuuze nga batunuulira omuvubuka eyattiddwa.

William Nyombi, 28, abadde abeera Katiiti era nga kigambibwa gye yavudde ku pikipiki ye okujja mu bitundu eno okumpi n'e Semuto gye baamuttidde.

Kansala Patric Kisekwa omukiise wa Makulubita ku disitulikiti, agamba nti amawulire gano gaatandise okutambula ku ssaawa nga 6:00 ez'ekiro nga gategeeza nga bwe waliwo omuntu eyattiddwa mu okumpi n'ekisenyi ky'omu Kitemamasanga n'alekebwa awo ne pikipiki ye UDN 225N era enkuba n'emuggweerako.

Kkojja w'omugenzi, Eriab Ssebuliba (musajja wa Kabaka), yategeezezza nti okutemulwa kwa Nyombi bwe kwandibaamu enkaayana ku bibanja byabwe ezirudde. Nnyina Grace Nakamatte omutuuze e Kagembe ono bakira akaaba alayaziirana ng'aomwana we bwe bamulanze obwemage kuba abadde wa ddembe.

Ettemu lwabaddewo mu kiro kya Ssande (ku Easter) mu Kitemamasanga. Ayogerera poliisi mu bitundu bya Savana, Paul Kangavve akakasizza ettemu lino ly'agamba nti kirabika baakozesezza jjambiya.