Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku Whats App ne Facebook

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku Whats App ne Facebook

 Ssalongo Erias Lukwago

LOODI MEEYA wa Kampala, Erias Lukwago alaze obwennyamivu olw'abavubuka abasusse okumalira ebiseera ku Facebook ne Whatsapp nti kyandiboononera ebiseera byabwe eby'omu maaso.

Yagambye nti mu kifo ky'okunoonya emirimu banyumya mboozi zitabazimba.Yasabye abayizi obutagayaalirira kusoma kwe kujja okubayamba mu maaso.

Yabyogeredde mu bayizi abeetabye mu musomo ogwategekeddwa abakulembeze be Nakawa okuli kansala wa Nakawa I, Moses Okwera mu kaweefube w'okulambika abaana ku ngeri gye bayinza okutuukiriza ebirooto byabwe.