Omwala gwa Port Bell gutandise okuddaabirizibwa

Omwala gwa Port Bell gutandise okuddaabirizibwa

 Ying. Kateeba

OMWALO gw'e Port Bell e Luzira ogubadde mu mbeera embi gutandise okuddaabirizibwa. Ebyamaguzi okuva e Mwanza mu Tanzania ne Kisumu mu Kenya bigobera wano.

Yingi. Charles Kateeba akulira ekitongole ky'eggaali y'omukka mu ggwanga ekya Uganda Railways Corporation (URC), nga kye kivunaanyizibwa ku mwalo guno yagambye nti okuguddaabiriza kiri mu nteekateeka ya Gavumenti ey'okuzza obuggya entambula ya tuleyini eyali edobonkanye.