Abaliko obulemu bakalambidde ku kya disitulikiti okweddiza ettendekero

Abaliko obulemu bakalambidde ku kya disitulikiti okweddiza ettendekero

Abantu abaliko obulemu nga baasomerako mu ttendekero lya Masaka Vocational Rehabilitation Center bongedde okukuba enkanda wansi nga bwe batagenda kukkiriza bakulembera disitulikiti y'e Masaka kweddiza kifo kino.

Baasinzidde ku ssomero lino mu lukiiko mwe baabadde basuubira okusisinkanira abakulembeze ba disitulikiti basalewo ekyenkomeredde nga RDC Herman Ssentongo bwe yabalagira mu lukiiko olwatuula ku ofiisi ye olwetabwamu enjuyi zombi. Kyokka aba disitulikiti baalwesambye awatali kuwa nsonga yonna.

Kyokka bano baanenyezza bakansala ababakiikirira ku disitulikiti okuli Esther Nakanjakko ne Bruno Mugumya okuyisa ekiteeso kino nga tebabeebuuzizzaako kye beegaanyi.

Kkansala Mugumya yabategeezezza nti ekintu kino yakiwulirako mu luvuuvuumo n'alinda kijje mu kkanso kyokka tebaakireeta n'abasuubiza nti bwe kinajja baakukirwanyisa. Baasabye bakansala bano okubakulemberamu okutwala okwemulugunya kwabwe eri Sipiika wa disitulikiti, Achilles Mawanda