Teddy talina mmizi - Paasita Bugingo

Teddy talina mmizi - Paasita Bugingo

 Bugingo ne bakyala be bombi

Bugingo yayongedde okwogerera mukazi we Teddy Naluswa amafuukuule n'agamba nti ensonga endala lwaki tasobola kumuddira ne bw'asaddaaka enjiibwa, talina mmizi.

Yagambye nti, ng'omukazi omufumbo alina abaana abakuleetedde ne ku bako b'oswalira, teyandigenze mu mawulire kwanika buziina bwe buli omu n'amanya ebifa mu maka ge. Yagambye nti, ye ng'omuntu omukulu, tasobola kugumiikiriza muntu alinga Teddy.

Yagambye nti abakazi ab'emmizi Teddy be yandibadde ayigirako mu Bayibuli bangi nnyo naye teyawa budde kusoma ku ngeri gye baakwatangamu bintu, obudde bwe yabumalanga mu kulingiriza na kuwalampa bba.

Yagambye nti, amwewuunya okusuulawo Bayibuli n'asalawo okumalira obudde ku mikutu gya yintanenti, amawulire n'abasumba abamulwanyisa abatayinza wadde okumuyamba. Bugingo yali yalayira obutaddamu kwogera birumya famire ye wabula kino yalabika ng'eyakivuddeko kuba okuva olwo akyamulumba.

Kyokka Teddy azze alumiriza nti Bugingo bino byonna abikola kuwugula bagoberezi atere awase omukazi omulala naye ye tafaayo kuba tajja kukkiriza kugattululwa.

Bbo abantu wadde bino weebiri ng'era abamu balina n'oludda lwe bagwako wakati wa Bugingo ne Teddy, tebasalangako kugenda kusaba.

N'eggulo, baabaddeyo bangi ddala era bakira buli Bugingo lw'afulumya ekigambo ekikoona mukazi we nga basaakaanya.

Waliwo abamu abatakyagwa kusaba wa Bugingo abanyumirwa okuwulira engeri Bugingo gy'akolokota mukazi we. Bugingo yasuubiza okuleeta ekipya bw'anaaba atandise ekisiibo era ekipya kye yasuubiza abantu, bangi bakirindiridde nga mbaga.