Ssente z'okutegeka ebikujjuko by'olunaku lw'Abajulizi e Namugongo zikyabuze

SENTE z’okutegeka ebikujjuko by’okukuza olunaku lw’abajulizi e Namugongo Klezia zikyagyekubya mpi.

 Omuzimbi ng'atereeza amayinja ku kiggwa ky'abajulizi. EBIFAANANYI BYA PONSIANO NSIMBI

Bajeti ya bukadde 900 gye balina baakafunako obukadde 527 mu mpeke ne mu bisuubizo.  Msgr. Msgr. Mathew Odong ow'essaza ly'e Gulu erikulembeddemu okutegeka emikolo gy'okulamaga omwaka guno asabye abasobola bongere okuwaayo.

Msgr. Odong ategeezezza Bukedde nti oyo yenna asobola okuwaayo obuyambi bw'ensimbi asobola okubuteeka ku akawunti : 3100059093 mu mannya ga Archdiocese Of Gulu Namugongo Martyrs Day. Akawunti eri mu Centenary Banka ettabi ekkulu ery'e Gulu.

Ekiseera kino ng'Abalamazi beeyongera okutuuka e Namugongo, eby'okwerinda byongedde okunywezebwa nga poliisi n'amagye beegattiddwako eggye erikuuma pulezidenti erya Special Forces Comand (SFC).

Mmotoka ennondemu zeezikkirizibwa okutuuka ku kiggwa ky'Abajulizi ku ludda olw'Abakatoliki. Abatabuza ebigere babalagidde okubeera nga batambulira ku ludda lw'oluguudo okutali klezia.

Atuuse ng'ayagala okuyingira ku kiggwa asala ekkubo ne bamwaza ne balyoka bamukkiriza okuyingira.

ABAAFIIRIDDE MU KABENJE BAGENDA KUBASABIRA LUMU:

Fr. Vincent Lubega ategeezezza nti ekiseera kino buli lwe basoma mmisa, bateekamu emyoyo gy'abantu abo abaafiiridde mu kabenje e Magamaga ttakisi UBD 860W bwe yabatomedde nga balamaga okugenda e Namugongo.

 

Klezia ekola enteekateeka okulaba nga wabeerawo okusabira abagenzi omulundi gumu n'oluvannyuma balabe bwe bakwatagana ne gavumenti okuzza e mirambo e Kenya.

Meeya wa Kira Julius Mutebi atuuse e Namugongo n'ategeeza nti nga gavumenti y'ekitundu bakoze ku kya kulongoosa nguudo Abalamazi kwe balina okutambulira batuuke mirembe.

Oludda lw'ekkanisa ya Uganda emirimu gy'okuyoyoota ekifo gigenda mu maaso, Abakritaayo n'abantu babulijjo beenyigidde mu kusaawa, okwera n'olongoosa ekifo kyonna we bagenda okusabira.