Ssempijja akolimidde abaamuyisizza ku litalaba

Ssempijja akolimidde abaamuyisizza ku litalaba

EBYA Tonny Ssempijja tebiggwa. Ennaku zino bw'omukubira essimu adda mu kukolima nga yeekokkola abategesi b'ebivvulu b'azze alwanirira okumuyitamu.

Omanyi Ssempijja ye mukwanaganya w'ekibiina kya UMP-NET ekigatta abategesi b'ebivvulu, bannannyini bifo ebisanyukirwamu n'abayimbi era yazze okulemberamu abantu bano okugenda ewa Gen. Saleh oluvannyuma eyabatuusa mu State House ewa Pulezidenti Museveni okwanja ebizibu byabwe.

Kyokka olugendo olwasembayo ebintu we byatandikira okumwonoonekera abantu ab'enjawulo mu kisaawe ky'okuyimba ne katemba ne batandika okumukuba amagi amavundu ne batuuka n'okumuyita bbulooka wa buli kintu ne bamulangira n'okutta ekisaawe ky'okuyimba.

Olw'okuba ddiiru yali agigusizza, Pulezidenti yakkiriza okubawa akawumbi kamu n'obukadde 800. Kyokka obubonero bwe bugenze bulaga nti ssente zigenda kuvaayo, Ssempijja ne bongera okumukuba ekikono era gye byaggweeredde nga baziyisizza ku akawunti z'abategesi b'ebivvulu.

Ssempijja yagambye nti bano baali baamusuubiza okumuwaayo akantu kyokka bwe baamaze okufuna ssente zino wiiki ewedde ne bamwesamba.

Obwedda buli amukubira essimu ng'akolima nga bw'agamba ndi wano ntudde ku Pope Paul nninda basajja bampe ku ssente naye tewali annyega. Kyokka waliwo atugambye nti yafunye ssente ate abalala ne bamulangira okwogera ennyo n'oluusi n'ava ku mulamwa